n'ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku ndiga ennume, n'ekiweebwayo eky'obutta ku baana b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.
Ne mu mbaga ne ku nnaku enkulu ekiweebwayo eky'obutta kinaabanga efa ku nte ne efa ku ndiga ennume ne ku b'endiga nga bw'anaayinzanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.
Era omulangira bw'anaategekanga ekyo ky'anaawangayo ku bubwe, ekiweebwayo ekyokebwa oba ebiweebwayo olw'emirembe okuba ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama, banaamuggulirangawo omulyango ogutunuulira obuvanjuba, era anaategekanga ekikye ekiweebwayo ekyokebwa n'ebibye by'awaayo ku bubwe nga bw'akola ku lunaku olwa ssabbiiti: kale afulumenga; awo ng'amaze okufuluma, banaggalangawo omulyango.
Naye bw'anaawanga ku busika bwe omuddu we yenna ekirabo, kiriba kikye okutuuka ku mwaka ogw'eddembe; ne kiryoka kidda eri omulangira; naye obusika bwe, obwo buliba bwa batabani be.
Era nate omulangira tatwalanga ku busika obw'abantu okubagoba mu butaka bwabwe; anaawanga batabani be obusika ng'abuggya ku butaka bwe ye: abantu bange, balemenga okusaasaana buli muntu okuva ku butaka bwe.
N'aŋŋamba nti Kino kye kifo bakabona we banaafumbiranga ekiweebwayo olw'omusango n'ekiweebwayo olw'ekibi, we banaayokeranga ekiweebwayo eky'obutta; baleme okubifulumya mu luggya olw'ebweru okutukuza abantu.
Era waaliwo olubu oluzimbibwa olwetoolodde mu zo okuzeetooloola ezo ennya, era lwakolebwa nga lulimu ebifo eby'okuufumbiramu wansi w'embu enjuyi zonna.