×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 47

1
Awo omusajja n'anzizaayo ku luggi lw'Essinzizo. Ne ndaba amazzi nga gava wansi w'omulyango gw'Essinzizo, ne gakulukuta nga galaga ebuvanjuba Essinzizo gye lyali litunudde. Amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo, ne gayita ku ludda lwa alutaari olw'ebukiikaddyo.
2
Omusajja n'anfulumiza mu mulyango ogw'omu bukiikakkono, n'antwala n'anneetoolooza okutuuka ku mulyango ogutunudde ebuvanjuba. Ne ndaba amazzi nga gakulukutira ku ludda olwa ddyo olw'omulyango ogwo.
3
Omusajja n'atambula ng'ayolekedde ebuvanjuba, ng'akutte olupimo mu mukono gwe. N'apima mita ebikumi bitaano n'aŋŋamba mpite mu mazzi. Amazzi ago, gaali gakoma mu bukongovvule.
4
N'addamu n'apima mita ebikumi bitaano, n'ampisa mu mazzi. Gaali nga gakoma mu maviivi. N'apima mita endala ebikumi bitaano, amazzi ne gankoma mu kiwato.
5
N'ayongera n'apima mita ebikumi bitaano, ne guba mugga gwe siyinza kusomoka, kubanga amazzi gaali gatumbidde nga tegasomokeka, okuggyako okugawuga obuwuzi.
6
N'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ekyo okirabye?” Awo n'antwala, n'anzizaayo ku lubalama lw'omugga.
7
Bwe nali nga nzirayo, ne ndaba nga ku lubalama lw'omugga, kuliko emiti mingi nnyo erudda n'erudda.
8
Awo n'aŋŋamba nti: “Amazzi gano gakulukuta nga gadda ebuvanjuba, ne gaserengeta mu Kiwonvu kya Yorudaani, ne geeyiwa mu Nnyanja Enfu. Bwe gatuuka mu nnyanja eyo, galongoosa amazzi gaamu ne gaba malungi.
9
Amazzi ago buli kifo mwe galikulukutira, buli kiramu ekigabeeramu, kiriba kiramu, era mulibaamu ebyennyanja bingi nnyo. Olw'amazzi ago agagenzeeyo, amazzi g'Ennyanja eyo Enfu galirongooka. Omugga guno buli gye gunaatuukanga, buli kintu kinaabanga kiramu.
10
Abavubi baliyimirira ku mabbali gaagwo. Okuva mu Engedi okutuuka e Negulayimu, era walibaawo ekifo eky'okutegamu obutimba. Walibaayo ebyennyanja bingi ebya buli ngeri, nga bwe biri mu Nnyanja Eyaawakati.
11
Naye amazzi mu bifo eby'ettosi ne mu ntobazzi ku mbalama zaagwo, tegalirongooka. Birirekebwa ne biba bya munnyo.
12
Ku lubalama lw'omugga ogwo, erudda n'erudda kulimerako buli muti ogwa buli ngeri, ogubalako ebibala ebiriibwa. Emiti egyo tegiiwotokenga makoola, era tegiirekengayo kubala bibala. Buli mwezi ginaabalanga ebibala ebiggya, kubanga amazzi agagiriisa gava mu Kifo Ekitukuvu. Ebibala byagyo biriba mmere, n'amakoola gaagyo galiba ddagala eriwonya.”
13
Awo Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Zino ze nsalo z'ensi gye muligabanyizaamu Ebika Ekkumi n'Ebibiri ebya Yisirayeli, ng'Ekika kya Yosefu kifuna emigabo ebiri.
14
Nneerayirira okuwa ensi eno bajjajjammwe, kale mugigabananga kyenkanyi, ebe obutaka bwammwe.
15
“Zino ze ziriba ensalo z'ensi eyo: ensalo ey'omu bukiikakkono eriva ku Nnyanja Ennene, n'ekwata ekkubo ery'e Hetulooni, n'etuuka awayingirirwa e Zedadi.
16
Eriyitira Hamati, n'etuuka e Berota, n'e Siburayimu ekiri wakati w'ensalo eyawula obwakabaka bwa Damasiko n'obwa Hamati, n'egenda e Hazarittatikoni, ekiri ku nsalo ya Hawuraani.
17
Kale ensalo ey'omu bukiikakkono, eriva ku Nnyanja Eyaawakati, n'ejja e Hazari Enoni ku ludda lw'ebuvanjuba, ku nsalo ne Damasiko, n'e Hamati ku ludda olw'ebukiikakkono.
18
“Ensalo ey'omu buvanjuba okudda mu bukiikaddyo, eriva wakati wa Hawuraani ne Damasiko, n'ejja n'Omugga Yorudaani ogwawula Gileyaadi n'ensi ya Yisirayeli. Mulipima okuva ku nsalo ey'omu bukiikakkono, okutuuka ku Nnyanja Enfu mu buvanjuba, eyo n'eba ensalo ey'ebuvanjuba.
19
“Ensalo ey'omu bukiikaddyo okudda mu ddungu, eriva ku Tamari, n'etuuka ku mazzi ag'e Meribati Kadesi, n'egenda n'akagga akali ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku Nnyanja Ennene. Eyo ye nsalo ey'ebukiikaddyo.
20
“Ensalo ey'ebugwanjuba eriba Nnyanja Ennene, okuva ku nsalo ey'ebukiikaddyo, okutuuka mu kifo ekitunudde awayingirirwa mu Hamati. Eyo ye eriba ensalo ey'ebugwanjuba.
21
“Muligabana ensi eno mu Bika byammwe.
22
Muligigabana nga mukuba kalulu, n'eba yammwe ya nsikirano. N'abagwira ababeera mu mmwe, era abazaalidde mu mmwe abaana, nabo balifuna omugabo ogwabwe nga mugigabana mu Bika bya Yisirayeli. Balibalibwa nga bazaaliranwa abajjuvu mu Bayisirayeli era baligabanira wamu nammwe mu Bika bya Yisirayeli.
23
Mu Kika omugwira mw'alibeera, mwe mulimuweera ettaka ery'ensikirano. Nze Mukama Afugabyonna, bwe ntyo bwe ndagidde.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes