×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Ezeekyeri 47

1
Awo n'anzizaayo ku luggi lwa Yeekaalu ne ndaba amazzi nga gava wansi w'omulyango gwa Yeekaalu ebuvanjuba, kubanga obwenyi bwa Yeekaalu bwali bwolekera ebuvanjuba, amazzi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo ku luuyi olw'ekyoto olw'obukiikaddyo.
2
Awo n'anfulumiza mu kkubo ery'omulyango obukiikakkono, n'antwala n'anneetoolooza mu kkubo ery'ebweru okutuuka ku mulyango ogw'ebweru mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, laba amazzi gaali gakulukuta okuva ku luuyi olwa ddyo.
3
Omusajja bwe yavaamu ng'agenda ebuvanjuba ng'akutte omugwa mu mukono gwe, n'agera emikono lukumi (1,000), n'ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu bukongovvule.
4
Nate n'agera lukumi (1,000), n'ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu maviivi. Nate n'agera lukumi (1,000), n'ampisa mu mazzi, agaali gakoma mu kiwato.
5
Oluvannyuma n'agera lukumi (1,000), naye kati amazzi gaali gafuuse mugga gwe nnali sisobola kusomoka kubanga amazzi gaali gatumbidde, era nga mangi agawugibwamu obuwugirwa, omugga ogutasomokeka.
6
N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, olabye?” Awo n'anzizaayo ku lubalama lw'omugga.
7
Awo bwe nnali nga nzizeeyo, laba, ku lubalama lw'omugga nga kuliko emiti mingi nnyo eruuyi n'eruuyi.
8
Awo n'aŋŋamba nti, “Amazzi gano gakulukuta okugenda mu nsi ez'ebuvanjuba, ne gaserengeta mu Alaba, ne gayingira mu nnyanja. Omugga bwe guyiwa mu nnyanja amazzi ne galongooka.
9
Awo olulituuka buli kintu kiramu tekirifa yonna omugga gye guyita, era mulibeeramu ebyennyanja bingi nnyo, kubanga amazzi gano agakulukutirayo gafuula amazzi ag'omu nnyanja ey'omunnyo okuba amalungi, n'olwekyo omugga gye guyita ebintu byonna binaabeeranga biramu.
10
Awo olulituuka abavubi baliyimirira ku lubalama lwagwo okuva e Engedi okutuuka e Negulayimu, era walibeerayo ekifo eky'okusuuliramu emigonjo; eby'ennyanja byabwe biriba ng'engeri zaabyo bwe biriba, okwenkana ebyennyanja ebiri mu nnyanja ennene, bingi nnyo nnyini.
11
Naye ebifo eby'ettosi n'entobazzi tebirirongooka, birisigala nga bya munnyo.
12
Era ku mugga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli muti ogubaako emmere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'ebibala byagwo tebiriggwaawo, gulibala ebibala biggya buli mwezi kubanga amazzi gaagwo gava mu watukuvu, n'ebibala byagwo biriba mmere, n'amalagala gaagwo galiba ga ddagala kuwonya.”
13
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Eno ye eriba ensalo gye muligabanirako ensi okuba obusika ng'ebika ekkumi n'ebibiri (12) ebya Isiraeri bwe biri, ne kika kya Yusufu kiriweebwa emigabo ebiri.
14
Nammwe muligigabana kyenkanyi, ensi gye nnalayirira bajjajjammwe okugibawa okuba obusika bwabwe.”
15
“Era eno ye eriba ensalo y'ensi: ku luuyi olw'obukiikakkono okuva ku mabbali g'ekkubo ery'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi;
16
Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'ensalo y'e Ddamasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukattikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani.
17
N'ensalo eva ku nnyanja eriba Kazalenooni awali ensalo y'e Ddamasiko, ne ku luuyi olw'obukiikakkono ye eri ensalo y'e Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'obukiikakkono.”
18
“N'oluuyi olw'ebuvanjuba wakati w'e Kawulaani ne Ddamasiko ne Gireyaadi n'ensi ya Isiraeri luliba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'obukiikakkono okutuuka ku nnyanja ey'ebuvanjuba. Olwo lwe luuyi olw'ebuvanjuba.
19
N'oluuyi olw'obukiikaddyo eri obukiika obwa ddyo luliva ku Tamali okutuuka ku mazzi ag'e Meribosukadesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene. Olwo lwe luuyi olw'obukiikaddyo mu busimba bwabwo.”
20
“N'oluuyi olw'ebugwanjuba luliba nnyanja nnene okuva ku nsalo ey'obukiikaddyo okutuuka awayolekera awayingirirwa mu Kamasi. Olwo lwe luuyi olw'ebugwanjuba.
21
Bwe mutyo bwe muligabana ensi eno mwekka na mwekka, ng'ebika bya Isiraeri bwe biri.
22
Awo olulituuka muligigabana n'obululu okuba obusika gye muli n'eri bannamawanga abaabeera mu mmwe abalizaala abaana mu mmwe; kale baliba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; baliba n'obusika wamu nammwe mu bika bya Isiraeri.
23
Awo olulituuka mu buli kika munnaggwanga mw'anaabeeranga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes