Naawe, omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okyeddirire ng'akamwano ak'omumwi, okiyise ku mutwe gwo ne ku kirevu kyo: kale otwale eminzaani okupima, oyawule mu nviiri.
Era kyajeemera emisango gyange nga kikola obubi okusinga amawanga, era kijeemedde amateeka gange okusinga ensi ezikyetoolodde: kubanga bagaanyi emisango gyange, n'amateeka gange tebagatambuliddemu.
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde;
Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna.
Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange.
Awo kiriba kivume n'ekikiino ekiyigirwako era ekisamaalirirwa eri amawanga agakwetoolodde, bwe ndituukiririza emisango mu ggwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era nga nnenya n'ekiruyi: nze Mukama nkyogedde
era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.