×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 5

1
Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kwata ekitala ekyogi, okikozese ng'akamwano k'omumwi w'enviiri, okimwese enviiri zo n'ekirevu kyo. Olwo okwate minzaani, opime enviiri ezo, era ozigabanyeemu.
2
Ekitundu ekimu ekyokusatu okyokere mu kifaananyi ky'ekibuga kye wakubye ku toffaali, ennaku ez'okuzingiza ekibuga ekyo nga ziweddeko. Ekimu ekyokusatu ekirala okikwate, ogende ng'okisalaasala n'ekitala nga weetooloola ekibuga. N'ekimu ekyokusatu ekisigaddewo, okisaasaanyize mu bbanga, kitwalibwe embuyaga, nze nsowoleyo ekitala kizigoberere.
3
Ku nviiri ezo, sigazaawo entonotono, ozisibe mu kikondoolo ky'omunagiro gwo.
4
Ne ku ezo, otwaleko ezimu ozisuule mu muliro, ziggye, ziveeko omuliro gusaasaanire eggwanga lya Yisirayeli lyonna.”
5
Mukama Katonda n'agamba nti: “Ekibuga kino Yerusaalemu, nakiteeka wakati w'amawanga era n'ensi ezikyetoolodde.
6
Naye kijeemedde ebiragiro byange n'amateeka gange, ne kikola ebibi n'ensi ezikyetoolodde. Ab'omu Yerusaalemu bajeemedde ebiragiro byange, era bagaanye okukwata amateeka gange.
7
N'olwekyo Nze Mukama Katonda ŋŋamba nti nga bwe muli ab'amawaggali okusinga ab'amawanga agabeetoolodde, ne mujeemera ebiragiro byange, ne mutakwata mateeka gange, oba waakiri okukwata amateeka ag'amawanga agabeetoolodde,
8
kale kaakano nze nzennyini ndi mulabe wammwe, era ndisala omusango okubasinga mmwe, ng'amawanga gonna galaba.
9
Olw'ebyo byonna bye mukola ate nga nze mbikyayira ddala, ndikolera mu mmwe kye sikolanga, era kye siriddamu kukola.
10
Abazadde, baliriira abaana baabwe mu Yerusaalemu, n'abaana balirya bazadde baabwe. Bwe ntyo bwe ndibabonereza mmwe, era abaliba basigaddewo nga balamu ndibasaasaanyiza buli ludda embuyaga gye zikuntira.
11
“Kale Nze Mukama Katonda, ndayira nti nga bwe ndi omulamu, bino bye ŋŋamba nti ggwe Yerusaalemu, nga bwe wayonoona Ekifo kyange Ekitukuvu ng'okikoleramu ebibi byonna n'ebyenyinyalwa byonna, kyendiva nsanjaga abantu abakulimu, awatali kusaasira.
12
Ekimu ekyokusatu eky'abantu bo balifa endwadde, era balimalibwawo enjala mu ggwe. N'ekitundu ekimu ekyokusatu kirittibwa mu lutalo okukwetooloola. N'ekitundu ekimu ekyokusatu ndikisaasaanyiza wonna embuyaga w'ekuntira, ne nsowola ekitala ekiribalondoola.
13
“Obusungu bwange bwe butyo bwe bulituukirira ku bo, ne ndyoka mmatira nga mbamaliddeko ekiruyi kyange. Bwe ndimala okubamalirako ekiruyi kyange, olwo mulimanya nga Nze Mukama, nze njogedde nammwe, kubanga munnyiizizza.
14
Ab'omu mawanga gonna agakwetoolodde baliyitawo, ne balaba bwe nkufudde amatongo, ne bakuvuma.
15
Bwe ndikubonereza nga ndi mu busungu n'ekiruyi, ab'amawanga gonna agakwetoolodde balitya. Balikutunulako ne beewuunya, ne bakunyooma. Nze Mukama nkyogedde.
16
Ndikendeeza emmere gye mubadde mufuna, olwo ne mulumwa enjala. Enjala eribaluma, ne muwulira ng'obusaale obusongovu obuweerezebwa okubazikiriza.
17
Ndisindika enjala n'ensolo enkambwe, ne bitta abantu bo. Era endwadde, n'obutemu, n'entalo, birijja mu ggwe. Nze Mukama njogedde.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes