×

BIBULIYA ENTUKUVU

Ezeekyeri 5

1
“Kale nno, mwana w'omuntu, ddira ekitala ekyogi okikozese ng'akamwano ka kinyoozi omwe omutwe gwo n'ekirevu kyo. Ddira minzaani oyawuleyawule mu nviiri n'ebirevu.
2
Ennaku z'okuzindwa kwo nga ziwedde, yokya ekyokusatu kyabyo, okyokere mu kibuga wakati. Ddira ekitundu ekyokusatu ogende ng'okikuba n'ekiso nga weetooloola ekibuga; ate ekitundu ekyokusatu ekirala kisaasaanye mu mpewo; kubanga ndibagoba n'ekitala ekisowole.
3
Ku nviiri ne ku birevu ojja kuggyako obutonotono obusibe ku mukugiro gw'omunagiro gwo;
4
ate otooleko obumu, obukasuke mu muliro wakati, obwokye n'omuliro. Omwo mujja kusitukamu omuliro gubune ennyumba yonna eya Yisirayeli.
5
Omukama Katonda kino ky'agamba: Ono ye Yeruzaalemu gwe nateeka mu mawanga wakati n'ensi ne zimwetooloola wonna.
6
Naye yajeemera ebiragiro byange n'asinga n'amawanga mu bugwenyufu, n'amateeka gange okukira ensi zonna ezimwetoolodde; yasambajja ebiragiro byange, teyagoberera mateeka gange.
7
“Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga mwevvujjuula n'okukira amawanga agabeetoolodde, ne mutatambulira mu biragiro byange, ne mutafa ku mateeka gange, ne muteefaananya nako ku mpisa z'amawanga agabeetoolodde,
8
n'olw'ekyo Omukama Katonda kino ky'agamba: Nange kennyini nkuli bukiika, nze nzennyini nzija kukuwa ekibonerezo mu maaso g'amawanga.
9
Olw'okubeera ebyenyinyalwa byo byonna bye wakola, nzija kukola mu ggwe bye sikolanga era ebiringa ebyo siriddayo kubikola.
10
Kale nno mu ggwe bakitaabwe b'abaana balirya abaana baabwe, n'abaana balirya bakitaabwe. Ndikubonereza, ne nsaasaanya mu mpewo bonna ababo abaliba basigaddewo.
11
Awo nno, mazima nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, kubanga ojaajaamizza ekitukuvu kyange olw'ebibi byo byonna ne bye wakola ebyenyinyalwa, nange nzija kubavaamu; eriiso eryange terijja kusonyiwa; sijja kusaasira.
12
Mu ggwe, ekitundu ekyokusatu kirifa kawumpuli oba balizikirira enjala wakati mu ggwe, ekyokusatu ekyokubiri kirifa ekitala ku njuyi zonna, ate ekyokusatu ekyokusatu nkisaasaanye mu mpewo wonna; ndibawondera n'ekitala ekisowole.
13
Olwo obusungu bwange bulikoma n'obuswandi bwange ku bo buliweerako, ne nkubagizibwa; bwe ndimala okubamalirako obusungu bwange, balimanya nga nze Omukama nze njogedde nga zigya mu bbuba lyange.
14
Ndikufuula matongo, eky'okusekerera mu mawanga ne mu maaso ga buli yenna ayitawo.
15
Oliba ekivumo era eky'okusekerera, akabonero akalabula, entiisa eri amawanga agakwetoolodde bwe ndikubonereza n'obusungu n'obuswandi n'ebibonerezo ebikambwe. Nze Omukama nze njogedde.
16
Nzija kubasindikira obusaale bwange obubi obw'enjala, obw'okubatta, bwe ndisindika mbazikirize; ndibasindikira enjala ku njala, ne mbakutula ne nkomya ekibasakirira emmere.
17
Ndibasindikira enjala n'ebisolo eby'ettale, nzija kubamalako abaana. Kawumpuli n'okuyiwa omusaayi birikuyitamu, ndikwolekeza n'ekitala, nze Omukama nze njogedde.”
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes