×

Luganda Bible 2003

Ezeekyeri 6

1
Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, tunula ku nsozi za Yisirayeli, ozivumirire,
3
ozigambe nti: ‘Mmwe ensozi za Yisirayeli, muwulire Mukama Katonda ky'agamba. Mukama Katonda agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu nti mulabe, nze nzennyini ndireeta olutalo ku mmwe, ne nsaanyaawo ebifo byammwe ebigulumivu, abantu mwe basinziza balubaale.
4
Alutaari za balubaale bammwe zirirekebwa ttayo, ebifo mwe banyookereza obubaane birimenyebwa. Abantu bammwe abalittibwa ndibasuula mu maaso g'ebifaananyi bye basinza.
5
Ndituuma emirambo gy'Abayisirayeli mu maaso g'ebifaananyi bye basinza, era ndisaasaanya amagumba gaabwe okwetooloola alutaari zammwe.
6
Yonna Abayisirayeli gye babeera, ebibuga byabwe birizikirizibwa, ebifo ebigulumivu mwe basinziza balubaale birekebwewo ttayo, alutaari zaabwe zoonoonebwe zifuuke matongo, ebifaananyi bye basinza bimenyebwe biggweewo, n'ebifo omwoterezebwa obubaane bizikirizibwe, n'ebintu byonna bye baakola bimalibwewo.
7
Abalittibwa baligwa wakati mu mmwe, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.’
8
“Naye nditalizaawo abamu ne batattibwa mu lutalo, ne basaasaanyizibwa mu mawanga,
9
gye balitwalibwa nga basibe. Kale abo abaliba bawonyeewo, balinzijukira nga bali eyo mu mawanga, ne bamanya bwe namenya emitima gyabwe egitali myesigwa egyanvaako, n'amaaso gaabwe ge baalalambaza nga bagazza ku bitali Nze Katonda, ne babisinza. Kale balyetamwa bo bennyini olw'ebibi byabwe, n'olw'ebyenyinyalwa bye bakola.
10
Balimanya nga Nze Mukama, era nga saatiisatiisa butiisatiisa bwe nagamba okubatusaako akabi ako.”
11
Mukama Katonda agamba nti: “Kunya engalo zo, era osambesambe wansi ku ttaka, okungubage olw'ebibi byonna, n'olw'ebyenyinyalwa Abayisirayeli bye baakola, bajja kufiira mu lutalo, battibwe enjala n'endwadde.
12
Abali ewala, bajja kulwala bafe; abali okumpi, bajja kuttirwa mu lutalo; n'abo abaliwonawo ne bazingizibwa, balifa enjala. Bwe ntyo bwe ndimalira ekiruyi kyange ku bo.
13
Emirambo gy'abattiddwa bwe giriba nga gigaŋŋalamye wakati mu bifaananyi bye basinza, okwetooloola alutaari zaabwe, ku buli kasozi akawanvu, ne ku ntikko zonna ez'ensozi, ne wansi wa buli muti ogw'amakoola, ne wansi wa buli muvule omuziyivu, mu buli kifo mwe baaweerangayo ebitambiro ebyokebwa eri ebifaananyi bye basinza, olwo lwe mulimanya nga Nze Mukama.
14
Ndigolola omukono gwange okubalwanyisa, ne nfaafaaganya ensi yaabwe gye babeeramu, n'ezika n'eba matongo, okuva ku ddungu okutuuka e Ribula. Olwo lwe balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes