Kaakano enkomerero ekutuuseeko, nange ndikuweereza ku busungu bwange, era ndikusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna.
So n'eriiso lyange teririkusonyiwa so sirikwatibwa kisa: naye ndikuleetako amakubo go, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati: kale mulimanya nga nze Mukama.
Omusango gwo gutuuse gy'oli, ai ggwe atuula mu nsi: ekiseera kituuse, olunaku luli kumpi; olunaku olw'okusasamaliramu so si lwa kwogereramu waggulu n'essanyu, ku nsozi.
Kaakano naatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne ntuukiriza obusungu bwange eri ggwe, ne nkusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna.
So n'eriiso lyange teririsonyiwa so sirikwatibwa kisa: ndikuleetako ng'amakubo go bwe gali, n'emizizo gyo giriba mu ggwe wakati; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba.
Ekyejo kigolokose okuba omuggo ogw'obubi; tewaliba ku bo abalisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe newakubadde obugagga bwabwe: so tewaliba bukulu mu bo.
Naye abo abaliwonawo ku bo baliwona, era baliba ku nsozi nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli muntu mu butali butuukirivu bwe.
Walijja akabi ku kabi, era waliwulirwa ebigambo ku bigambo; era balinoonya okwolesebwa eri nnabbi; naye amateeka galibula awali kabona, n'okuteesa awali abakadde.