BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| N'aleekaana n'eddoboozi eddene mu matu gange ng'agamba nti: “Mmwe ab'okubonereza ekibuga, musembere, buli omu n'ekissi mu mukono gwe.” |
| 2 |
| Awo ne wabaawo abasajja mukaaga, ne bajja nga bava ku ludda olw'omulyango ogw'engulu ogutunuulidde emambuka, buli omu n'ekissi mu mukono gwe. Baalimu omusajja ng'ayambadde engoye eza kitaani, ng'alina mu kiwato akakopo ka bwino, ne bayingira, ne bayimirira kumpi n'omwaliiro ogw'ekikomo. |
| 3 |
| Awo ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli ne kisituka nga kiva waggulu ku bakerubi kwe kyali ne kigenda ku mulyango gw'Ekiggwa; Omukama n'ayita omusajja eyali ayambadde engoye eza kitaani ng'alina mu kiwato akakopo ka bwino. |
| 4 |
| Omukama n'amugamba nti: “Yita wonna mu kibuga kya Yeruzaalemu, ogende ng'olamba akabonero ku byenyi by'abantu abasinda n'abanakuwadde olw'ebyenyinyalwa byonna ebikolerwamu.” |
| 5 |
| Ate ne mpulira ng'agamba abalala nti “Muyiteeyite mu kibuga nga mumugoberera, nga mugenda mutta awatali kutunuuliza kisa oba kusaasira. |
| 6 |
| Mutte abasajja n'abavubuka, embeerera, abakazi n'abaana; naye temukwata ku yenna gwe munaalabako akabonero. Mutandikire awali ekitukuvu kyange.” Ne basookera ku basajja abakadde abaali mu maaso g'Ekiggwa. |
| 7 |
| N'abagamba nti: “Ekiggwa mukijaajaamye, empya zaakyo muzijjuze abattiddwa. Mufulume.” Ne bafuluma ne bagenda nga batta wonna mu kibuga. |
| 8 |
| Bwe baali batta, nze nga nsigadde nzekka, ne ngwa wansi ku maaso gange ku ttaka nga bwe ndeekaana nti: “Yii! ayi Mukama Katonda, ogenda kuzikiriza bonna abaasigalawo mu Yisirayeli ng'omalira obuswandi bwo ku Yeruzaalemu?” |
| 9 |
| N'anziramu nti “Ekibi ky'ennyumba ya Yisirayeli n'eya Yuda kinene nnyo nnyo: ensi ejjudde okuyiwa omusaayi n'ekibuga kijjudde obulyake. Anti baagamba nti ‘Omukama ayabulidde ensi! Omukama talaba!’ |
| 10 |
| Awo nno nange sijja kubatunuuliza kisa, sijja kubasaasira, wabula nzija kussa ku mitwe gyabwe byonna bye baakola.” |
| 11 |
| Awo omusajja eyali ayambadde engoye eza kitaani, eyalina mu kiwato akakopo ka bwino, n'azza obubaka, n'agamba nti: “Nkoze nga bwe wandagidde.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/ezekiel/009.mp3
48
9