1
Awo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu matu gange nti, “Sembeza abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akutte eky'okulwanyisa kye ekizikiriza mu mukono gwe.”
2
Kale, laba, abasajja mukaaga ne bajja nga bayita mu mulyango ogw'engulu ogutunudde e bukiikakkono, buli muntu ng'akutte mu mukono gwe ekissi, nga kubo kuliko omusajja wakati mu bo ayambadde ekyambalo kya bafuta, ng'alina ekikompe kya bwino mu kiwato ow'okuwandiisa. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g'ekyoto eky'ekikomo.
3
Ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali kirinnye okuva ku kerubi kwe kyali, nga kizze ku mulyango ogw'ennyumba. Mukama n'ayita omusajja ayambadde bafuta eyali yeesibye ekikompe kya bwino mu kiwato ow'okuwandiisa.
4
Awo Mukama n'amugamba nti, “ Genda oyiteeyite mu kibuga Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by'abantu abanakuwadde era abakaaba olw'eby'emizizo byonna ebikolebwa mu kyo.”
5
N'abalala n'abagamba nze nga mpulira nti, “ Mmwe muyiteeyite mu kibuga nga mumuvaako emabega, mutte, nga temubaako yenna gwe mukwatirwa kisa.
6
Mutte, abakadde, n'abalenzi n'abawala, n'abaana abato n'abakazi: naye temusemberera muntu yenna aliko akabonero. Era musookere ku watukuvu wange.” Awo ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g'ennyumba.
7
N'abagamba nti, “ Ennyumba mugyonoone, mujjuze empya emirambo gy'abattiddwa: kale mugende.” Awo ne bafuluma ne bagenda batta abantu mu kibuga.
8
Awo olwatuuka, bwe baali nga batta nange nga nsigaddewo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! onoozikiriza Isiraeri yenna afisseewo, ng'ofukira ddala ekiruyi kyo ku Yerusaalemi?”
9
Awo Mukama n'anziramu nti, “Obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri ne Yuda bungi nnyo nnyini, n'ensi ejjudde omusaayi, n'ekibuga kijjudde obutali bwenkanya: kubanga boogera nti, ‘Mukama yaleka ensi, era Mukama talaba.’
10
Bwentyo nange ssiribatunuulira n'eriiso erisaasira, wadde okubalaga ekisa, naye ndibabonereza olw'ebikolwa byabwe.”
11
Awo omusajja ayambadde bafuta nga yeesibye ekikompe ekya bwino mu kiwato n'azza ebigambo n'agamba nti, “Nkoze nga bw'ondagidde.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.