Saalyanga ku mmere ennungi, so n'ennyama newakubadde omwenge tebyayingiranga mu kamwa kange, so saasaabanga mafuta, ne mmalira ddala ssabbiiti ssatu ennamba.
Awo nze ne nsigala omu ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye nnayolesebwa, so ne mutasigala mu nze maanyi gonna: kubanga obulungi bwange ne bufuuka obuvundu mu nze, ne ssiba na maanyi nate.
Era naye ne mpulira eddoboozi ery'ebigambo bye: era bwe nnawulira eddoboozi ery'ebigambo bye nali nneebase otulo tungi nga nvuunamye amaaso gange, amaaso gange nga gatunuulira ettaka.
Era, laba, eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma hu mimwa gyange: ne ndyoka njasama akamwa kange, ne njogera, ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso gange nti Ai mukama wange, olw'ebyo bye nnayolesebwa ennaku zange ne zinziramu, ne siba na maanyi nate.
Kubanga omuddu wa mukama wange ono ayinza atya okwogera ne mukama wange ono? kubanga nze, amangu ago ne mutasigala mu nze maanyi gonna, so n'omukka gwonna ne gutabeera nate mu nze.