Awo abaamasaza, n'abamyuka baabwe, n'abafuga, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi ba magezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna abo mu masaza, ne bakuŋŋaana olw'okuwonga ekifaananyi kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza ne bayimirira mu maaso gaakyo.
Awo Nebukadduneeza n'alyoka asunguwala ne yeejuumuula n'alagira okuleeta Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka.
Awo abasajja abo ne basibibwa nga bambadde engoye zaabwe: ekkanzu zaabwe, n'eminagiro gyabwe, ne byo ku mitwe gyabwe, ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro.
N'abagamba nti, “Nze nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi! n'owookuna aliŋŋaanga omwana wa bakatonda.”
Awo Nebukadduneeza n'alyoka asembera kumpi n'omulyango gw'ekikoomi ekyaka n'omuliro, n'akoowoola nti, “Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, mmwe abaweereza ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume, mujje wano.” Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego ne balyoka bafuluma wakati mu muliro.
Abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, n'abawi ba magezi, bonna ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziyidde era nga n'olusu lw'omuliro terubawunyako.
Nebukadduneeza n'agamba nti, “Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be abamwesize ne bawaakanya ekigambo kyange nze kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe mu kabi, baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna, okuggyako Katonda waabwe bo.