Amalagala gaagwo malungi, n'ebibala byagwo bingi, era mu gwo nwalimu emmere emala bonna: ensolo ez'omu nsiko zeggamanga nu kisiikirize kyagwo, n'ennyonyi z'omu ggulu ne zituula ku matabi gaagwo, ne byonna ebirina emibiri ne bigulyangako.
Era naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omugonvu ogw'omu nsiko: era kitobenga omusulo ogw'omu ggulu, n'omugabo gwe gubenga n'ensolo mu muddo ogw'ensi:
Omusango ogwo guvudde mu tteeka ery'abatunuzi, n'okuteesa okwo kuvudde mu kigambo eky'abatukuvu: abalamu balyoke bategeere ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa buli gw'ayagala, era ng'akuza ku bwo asinga abantu bonna obunaku.
ng'oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko, era oliriisibwa omuddo ng'ente, era olitoba omusulo ogw'omu ggulu, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.
Kabaka n'ayogera nti Kino si Babulooni ekikulu, kye nnazimba okuba ennyumba ya bakabaka n'amaanyi ag'obuyinza bwange n'olw'ekitiibwa eky'obukulu bwange?
Ekigambo kyali nga kikyali mu kamwa ka kabaka, eddoboozi ne ligwa nga liva mu ggulu, nti Ggwe kabaka Nebukadduneeza, kyogerwa eri ggwe: obwakabaka bukuvuddeko.
Era onoogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko: era oliriisibwa omuddo ng'ente, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.
Mu ssaawa eyo ekigambo ne kituukiririra Nebukadduneeza: n'agobebwa okuva mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, n'omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw'omu ggulu, okutuusa enviiri ze lwe zaakula nga ebyoya by'empungu, n'enjala ze nga enjala z'ennyonyi.
Ennaku ezo bwe zaggwa nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n'emirembe, kubanga okufuga kwe kwe kufuga okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe:
n'abo bonna abatuula mu nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bw'ayagala mu ggye ery'omu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi: so siwali ayinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumugamba nti Okola ki?
Mu kiseera ekyo amagezi gange ne ganziramu: n'olw'ekitiibwa eky'obwakabaka bwange, obukulu bwange n'okumasamasa kwange ne binziramu: n'abakungu bange n'abaami bange ne bannoonya; ne nnywezebwa mu bwakabaka bwange, n'obukulu obungi ennyo ne bunnyongerwako.
Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza era mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w'eggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n'amakubo ge ga nsonga: n'abo abatambulira mu malala ayinza okubajeeza.