Berusazza, bwe yali ng'alega ku mwenge, n'alagira okuleeta ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi: kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, babinywese.
Awo ne baleeta ebintu ebya ffeeza ebyaggibwa mu yeekaalu ey'ennyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi: ne kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, ne babinywesa.
Mu ssaawa eyo ne walabika engalo z'omukono gw'omuntu, ne ziwandiika mu maaso g'ettabaaza ku ttaka ery'oku kisenge eky'olubiri: kabaka n'alaba ekitundu ky'omukono nga kiwandiika.
Awo amaaso ga kabaka ne gawaanyisibwa gy'ali, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza: n'ennyingo ez'omu kiwato kye ne ziddirira, n'amaviivi ge ne gakubagana.
Awo kaddulubaale n'ayingira mu nju ey'embaga olw'ebigambo bya kabaka n'abaami be; kaddulubaale n'ayogera nti Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: ebirowoozo byo bireme okukweraliikiriza, so n'amaaso go galeme okuwaanyisibwa:
Ne kaakano abagezigezi, abafumu, bayingizibbwa mu maaso gange, basome okuwandiika okwo, era bantegeeze amakulu gaakwo: naye ne batayinza kulaga makulu ga kigambo ekyo.
Awo Danyeri n'addamu n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti Ebirabo byo beera nabyo ggwe, n'empeera yo ogiwe omulala: era naye naasomera kabaka ebiwandiikiddwa, ne mmutegeeza amakulu.
era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna, amawanga, n'ennimi ne bakankana ne batya mu masao ge: yattanga gwe yayagalanga okutta; era yalamyanga gwe yayagalanga okulamya; era yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, era yatoowazanga gwe yayagalanga okutoowaza.
n'agobebwa okuva mu baana b'abantu: n'omutima gwe ne gufuusibwa ng'ogw'ensolo, n'abeera wamu n'entulege n'aliisibwa omuddo ng'ente, omubiri gwe ne gutoba omusolo ogw'omu ggulu: okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali waggulu ennyo ye afuga mu bwakabaka bw'abantu, era ng'akuza ku bwo buli gw'ayagala.
naye weegulumiza eri Mukama w'eggulu: ne baleeta ebintu eby'omu nnyumba ye mu maaso go, naawe n'abaami bo, abakyala bo n'abazaana bo, ne mubinywesa omwenge: n'otendereza bakatonda aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, so tebawulira, so tebategeera: ne Katonda oyo alina omukka gwo mu mukono gwe, era nannyini makubo go gonna, tomuwa kitiibwa:
Berusazza n'alyoka alagira, ne bayambaza Danyeri olw'effulungu, n'amwambika omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, n'alangirira ku ye nga ye anaabanga omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.