Era, laba ensolo endala, ey'okubiri, yaliŋŋanga ddubu, era yali egulumizibwa ku lubiriizi lumu, n'embiriizi ssatu zaali mu kamwa kaayo amannyo nga gazikutte: ne bagigamba bwe bati nti Golokoka, olye ennyama ennyingi.
Nakebera amayembe, era, laba, ne wamera mu go ejjembe eddala, ettono, ne mu maaso gaalyo asatu ku mayembe ag'olubereberye ne gasimbulirwa ddala: era, laba, mu jjembe eryo mwalimu amaaso ng'amaaso g'omuntu, n'akamwa akoogera ebikulu.
Omugga gw'omuliro ne gutiiriika ne gufuluma mu maaso ge: enkumi n'enkumi baamuweereza, n'obukumi emirundi akakumi baayimirira mu maaso ge: omusango ne gubaawo, ebitabo ne byanjuluzibwa.
Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng'omwana w'omuntu n'ebire eby'omu ggulu, n'ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.
N'ayogera bw'ati nti Ensolo ey'okuna eriba bwakabaka obw'okuna mu nsi, obutalifaanana ng'obwakabaka bwonna, era obulirya ensi zonna, era obulizisambirira, era obulizimenyaamenya.
Era alyogera ebigambo ebibi eri Oyo Ali waggulu ennyo, era aliteganya abatukuvu b'Oyo Ali waggulu ennyo: era alirowooza okuwaanyisa ebiseera n'amateeka: era biriweebwayo mu mukono gwe okutuusa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera lwe biriggwaawo.
Ekigambo ekyo we kikoma wano. Nange Danyeri, ebirowoozo byange byanneeraliikiriza nnyo, n'amaaso gange ne gawaanyisibwa gye ndi: naye ne nzisa ekigambo ekyo mu mutima gwange.