Ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa: ne kiba bwe kiti; bwe nnalaba nali mu lubiri lw’e Susani, oluli mu ssaza Eramu: ne ndaba mu ebyo ebyanjolesebwa, era nnali ku mugga Ulaayi.
Ne ndaba endiga ensajja ng'esindika eri ebugwanjuba, n'eri obukiika obwa kkono, n'eri obukiika obwa ddyo: so mpaawo nsolo ezaayinza okuyimirira mu maaso gaayo, era mpaawo eyayinza okuwonya mu mukono gwayo: naye yakolanga nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza.
Embuzi ensajja ne yeegulumiza nnyo: era mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyayo ekkulu mwe lyamenyekera: ne mu kifo kyalyo ne mumera ana agaalabika ennyo agaatunuulira empewo ennya ez'omu ggulu.
Weewaawo, lyekuza lyokka, era n'okutuuka eri omukulu w'eggye: ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna, n'ekifo eky'awatukuvu we ne kisuulibwa.
N'eggye ne liweebwayo eri eryo awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna olw'okwonoona: ne lisuula amazima wansi: ne likola nga bwe lyagala ne liraba omukisa.
Awo, nze, ye nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne ndyoka nnoonya okubitegeera: era, laba, ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng'eky'omuntu.
Ne mu kiseera eky'enkomerero eky'obwakabaka bwabwe, aboonoonyi nga batuukiridde, kabaka ow'amaaso amakambwe, era ategeera ebigambo eby'ekyama, aliyimirira.
N'obuyinza bwe buliba bungi, naye si lwa buyinza bwe ye: era alizikiriza kitalo, era aliraba omukisa, era alikola by'alyagala: era alizikiriza ab'amaanyi n'abantu abatukuvu.
Era olw'amagezi ge alyeza enkwe mu mukono gwe: era alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nga mirembe: era aliyimirira okulwanyisa omulangira w'abalangira: naye alimenyeka awatali ngalo.
Nange Danyeri ne nzirika, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi; ne ndyoka ngolokoka, ne nkola emirimu gya kabaka: ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye mpaawo eyabitegeera.