Ekigambo kya Mukama ekyajjira Koseya mutabani wa Beeri mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri.
Mukama n'amugamba nti Mutuume erinnya lye Yezuleeri; kubanga ekyasigaddeyo ekiseera kitono mpalane omusaayi gwa Yezuleeri ku nnyumba ya Yeeku, era ndikomya obwakabaka obw'ennyumba ya Isiraeri.
Naye ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Yuda, era ndibalokola ne Mukama Katonda waabwe, so siribalokola na mutego newakubadde ekitala newakubadde olutalo newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde.
Era naye omuwendo gw'abaana ba Isiraeri guliba ng'omusenyu ogw'ennyanja ogutayinzika kupimibwa newakubadde okubalibwa; kale olulituuka mu kifo mwe baagambirwa nti Mmwe temuli bantu bange, we baligambirwa nti Mmwe muli baana ba Katonda omulamu.
Awo abaana ba Yuda n'abaana ba Isiraeri balikuŋŋaanyizibwa, era balyerondera omutwe gumu, ne bambuka okuva mu nsi: kubanga olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.