|
| 1 |
|
| Abayisirayeli bali ng'omuzabbibu ogubala ennyo. Gye baakoma okweyongera obungi, gye baakoma n'okuzimba zaalutaari. Ensi yaabwe gye yakoma okweyongera okuba ennungi, gye baakoma n'okulungiya empagi ez'amayinja ze basinza. |
|
| 2 |
|
| Emitima gyabwe tegitereera ku kimu. Kale kaakano bajja kubonaabona olw'ebibi byabwe. Katonda ajja kumenyawo zaalutaari zaabwe, era azikirize n'empagi ez'amayinja ze basinza. |
|
| 3 |
|
| Banaatera okugamba nti: “Tetulina kabaka, kubanga tetutya Mukama. Naye kabaka kiki ky'ayinza okutukolera?” |
|
| 4 |
|
| Boogera bigambo bugambo, ne balayira eby'obulimba mu kukola endagaano. Ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro. |
|
| 5 |
|
| Ab'e Samariya balitya, era balikungubaga olw'okuviibwako ennyana eya zaabu ey'e Betaveni. Bo awamu ne bakabona abagisinza, baligikaabira. Baliwuubaala bw'eriggyibwako ekitiibwa kyayo. |
|
| 6 |
|
| Nayo eritwalibwa mu Assiriya, okuba ekirabo kya kabaka omukulu. Abayisirayeli balikwatibwa ensonyi ne baswala, olw'amagezi ge baagoberera. |
|
| 7 |
|
| Kabaka w'e Samariya alitwalibwa ng'ekibajjo ky'omuti bwe kitwalibwa ku mazzi. |
|
| 8 |
|
| N'ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, Abayisirayeli gye basinziza ebifaananyi, birizikirizibwa. Amaggwa n'omuddo birimera ku zaalutaari zaabwe. Baligamba ensozi nti: “Mutubuutikire!” n'obusozi nti: “Mutugweko!” |
|
| 9 |
|
| Mukama agamba nti: “Abayisirayeli tebalekangayo kukola bibi, okuviira ddala mu kiseera kye baakoleramu ebibi e Gibeya. Kale olutalo lulibakwatira e Gibeya. |
|
| 10 |
|
| Ndirumba abantu bano aboonoonyi, ne mbabonereza. Amawanga galikuŋŋaanyizibwa okubalwanyisa, era balibonerezebwa olw'ebibi byabwe ebingi. |
|
| 11 |
|
| “Yisirayeli edda yali ng'ente ennyana eyigiriziddwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano. Naye nasalawo okumuteeka ekikoligo mu bulago bwe obulungi, mmukozese emirimu egy'amaanyi. Ab'omu Buyudaaya balikabala, ab'omu Yisirayeli balikuba amavuunike. |
|
| 12 |
|
| Nagamba nti: ‘Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, musige obutuukirivu, mukungule emikisa eginaava mu kunjagala. Kino kye kiseera mmwe okudda gye ndi nze Mukama. Nja kujja mbayiweko emikisa eginaabalokola.’ |
|
| 13 |
|
| Naye musize ekibi ne mukungula ebibala byakyo. Mulidde ebibala eby'obulimba bwammwe, kubanga mwesiga amagaali gammwe, n'abatabaazi bammwe abangi. |
|
| 14 |
|
| N'olwekyo olutalo lulisasamaza abantu bammwe, era ebigo byammwe byonna birizikirizibwa. Kiriba nga bwe kyali, Kabaka Salumaani bwe yazikiriza ekibuga Betirarubeeli mu lutalo, abakazi ne battibwa wamu n'abaana baabwe. |
|
| 15 |
|
| Bwe kityo bwe kiriba ne ku mmwe abantu b'e Beteli, olw'ebibi byammwe ebyenkanidde awo obungi. Olutalo luliba lwakatandika, kabaka wa Yisirayeli alisaanyizibwawo.” |
|
|
|
|