|
| 1 |
|
| Isiraeri muzabbibu ogubala ennyo, ng'ebibala bye bwe byeyongeranga obungi, bw'atyo naye gyeyakoma okuzimba ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, n'empagi ze gyezeyongera okuba ennungi. |
|
| 2 |
|
| Omutima gwabwe mulimba, kaakano balina okwettika omusango gwe. Katonda ajja kumenyawo ebyoto byabwe, era azikirize n'empagi zaabwe. |
|
| 3 |
|
| Mazima kaakano banaayogera nti, “Tetulina kabaka, kubanga tetutya Mukama; ne kabaka ayinza kutukolera ki?” |
|
| 4 |
|
| Boogera bigambo bugambo, nga balayira eby'obulimba baalagaana endagaano; ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro. |
|
| 5 |
|
| Abali mu Samaliya bakankana olw'ennyana ey'e Besaveni. Abantu baakyo baligikungubagira, ne bakabona baakyo abasinza ebifaananyi baligiwuubaalira, olw'ekitiibwa kyayo ekigivuddeko. |
|
| 6 |
|
| Yee, ekintu ekyo kiritwalibwa e Bwasuli, ng'ekirabo kya kabaka omukulu. Efulayimu aliswazibwa, ne Isiraeri alikwatibwa ensonyi olw'ekifaananyi kye. |
|
| 7 |
|
| Kabaka w'e Samaliya alizikirira, ng'ekibajjo ky'omuti kungulu ku mazzi. |
|
| 8 |
|
| Ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, okwonoona kwa Isiraeri, birisanyizibwawo; amaggwa n'amatovu galimerera ku byoto byabwe, era baligamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n'obusozi nti, “Mutugweko.” |
|
| 9 |
|
| Okuva mu nnaku za Gibeya, wayonoona, ayi Isiraeri, eyo gye beyongerera. Olutalo terulibakwatira e Gibeya? |
|
| 10 |
|
| Ndirumba abantu bano aboonoonyi ne mbakangavvula; n'amawanga galikuŋŋaanyizibwa okulwana nabo, era balibonerezebwa olw'okusobya kwabwe okunene. |
|
| 11 |
|
| Efulayimu nte nduusi eyigirizibbwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano; era nditaliza ensingo ye ennungi, naye nditeeka Efulayimu ku kikoligo, Yuda alikabala ne Yakobo alikuba amavuunike. |
|
| 12 |
|
| Mwesigire obutuukirivu, mukungule okwagala okwannamaddala; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesezaako obutuukirivu. |
|
| 13 |
|
| Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba kubanga weesiganga amagaali go, n'abasajja bo abalwanyi ab'amaanyi. |
|
| 14 |
|
| N'olwekyo oluyoogaano olw'olutalo lulisituka mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birizikirizibwa nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo, era nnyaabwe lwe yatandaggirwa wamu n'abaana be. |
|
| 15 |
|
| Bw'ekityo bwe kirikukolebwa, ayi ennyumba ya Isiraeri, olw'okwonoonakwo okunene. Mu mayengo kabaka wa Isiraeri alisalirwako ddala. |
|
|
|
|