Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| “Abayisirayeli bagoba mpewo olunaku lwonna, bawondera mbuyaga y'ebuvanjuba. Beeyongera kukola bya bulimba na bya bukambwe. Bakola endagaano ne Assiriya, era batwala omuzigo mu Misiri.” |
| 2 |
| Mukama alina ky'avunaana abantu ab'omu Buyudaaya, era ajja kubonereza Yisirayeli, olw'engeri abantu baayo gye beeyisaamu. Ajja kubasasula olw'ebyo bye bakola. |
| 3 |
| Jjajjaabwe Yakobo yalwana ne muganda we Esawu, nga bakyali mu lubuto lwa nnyaabwe. Yakobo bwe yakula, n'alwanyisa Katonda. |
| 4 |
| Yalwana ne malayika, n'awangula. Yakaaba n'asaba okumuwa omukisa. E Beteli, Katonda yasisinkana Yakobo, era eyo gye yayogerera naffe. |
| 5 |
| Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna, erinnya lye ye Mukama. |
| 6 |
| Kale mmwe bazzukulu ba Yakobo, mukyuke mudde eri Mukama, era mumwesige. Mubeerenga ba kisa era ba mazima. Bulijjo mwesigenga Katonda wammwe. |
| 7 |
| Mukama agamba nti: “Abayisirayeli si beesigwa. Bali ng'omusuubuzi akozesa minzaani eteri ntuufu, ayagala okunyaga. |
| 8 |
| Bagamba nti: ‘Tuli bagagga, twefunidde ebintu. Tewali ayinza kutulumiriza nti twagaggawala mu bukumpanya.’ |
| 9 |
| Naye nze Mukama, Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndiddamu okubasuza mu nsiisira, nga ze mwalimu, bwe najja gye muli mu ddungu. |
| 10 |
| “Nayogeranga n'abalanzi, era ne mbongera okulabikirwa, era ne ndabula abantu bange, nga mpita mu balanzi. |
| 11 |
| Abakola ebibi mu Gilugaali, gye basalira ente ennume ez'ebitambiro, zaalutaari zaabwe zirifuuka ng'entuumu z'amayinja ku mbibiro z'ennimiro.” |
| 12 |
| Yakobo yaddukira mu nsi ya Aramu. Era okusobola okuwasaayo omukazi, yakolera omuntu omulala, n'amulundira endiga ze. |
| 13 |
| Mukama yatuma omulanzi okuggya Abayisirayeli mu buddu mu Misiri, n'okubalabirira. |
| 14 |
| Abayisirayeli basunguwazizza nnyo Mukama. Basaanira kufa, olw'emisango gye bazza. Mukama alibabonereza olw'okumunyooma. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/hosea/012.mp3
14
12