Luganda Bible
|
| 1 |
| Ai Isiraeri, komawo eri Mukama Katonda wo; kubanga ogudde olw'obutali butuukirivu bwo. |
| 2 |
| Mutwale ebigambo wamu nammwe, mukomewo eri Mukama: mumugambe nti Ggyawo obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky'omu mimwa gyaffe, ng'ente ennume. |
| 3 |
| Asuli talituwonya; tetulyebagala embalaasi: so tetuligamba nate mulimu gwa mikono gyaffe nti Mmwe muli bakatonda baffe: kubanga eri ggwe atalina kitaawe gy'alabira okusaasirwa. |
| 4 |
| Ndiwonya okudda kwabwe ennyuma, ndibaagala ku bwange: kubanga obusungu bwange bukyuse okumuvaako. |
| 5 |
| Ndiba eri Isiraeri ng'omusulo: alimulisa ng'eddanga, era alisimba emizi gye nga Lebanooni. |
| 6 |
| Amatabi ge galiranda, n'obulungi bwe buliba ng'omuzeyituuni, n'akaloosa ke nga Lebanooni. |
| 7 |
| Ababeera wansi w'ekisiikirize kye balikomawo; balirama ng'eŋŋaano, ne bamulisa ng'omuzabbibu: akawoowo ke kaliba ng'omwenge ogwa Lebanooni. |
| 8 |
| Efulayimu alyogera nti Nkyafaayo ki eri ebifaananyi? Nze njitabye, era ndissaayo omwoyo eri ye: nninga omuberosi omugimu; ebibala byo birabika okuva gye ndi. |
| 9 |
| Ani alina amagezi n'ategeera bino? ani alina obukabakaba n'abimanya? kubanga amakubo ga Mukama ga nsonga, n'abatuukirivu banaagatambulirangamu; naye abasobya banaagwanga omwo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/hosea/014.mp3
14
14