Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Mmwe Abayisirayeli, mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ebibi byammwe bibaleetedde okwesittala ne mugwa. |
| 2 |
| Mujje nga muteeseteese okwegayirira kwammwe, mudde eri Mukama, mumugambe nti: “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, osanyukire ebirungi, tulyoke tusobole okukutendereza. |
| 3 |
| Assiriya teyinza kutuwonya, era tetujja kwebagala mbalaasi za lutalo. Bye twakola n'emikono gyaffe tetukyaddayo kubiyita Katonda waffe, kubanga ggwe okwatirwa ekisa abo abatalina abayamba.” |
| 4 |
| Mukama agamba nti: “Ndikomyawo abantu bange gye ndi. Ndibaagala n'omutima gwange gwonna, kubanga sikyabalinako busungu. |
| 5 |
| Ndinnyikiza Abayisirayeli ng'enkuba bw'ennyikiza ettaka. Balyanya ng'ebimuli, balisimba emirandira mu ttaka, ng'emiti gy'oku Lebanooni. |
| 6 |
| Amatabi gaabwe galyagaagala, ne banyirira ng'omuti omuzayiti. Baliwunya akawoowo, ng'emiti egy'oku Lebanooni. |
| 7 |
| Balikomawo ne babeera mu kisiikirize kyange. Balyanya ng'eŋŋaano, ne bamulisa ng'omuzabbibu. Balyatiikirira ng'omwenge ogw'e Lebanooni. |
| 8 |
| Abayisirayeli tebaliddayo kusinza bifaananyi: nnaabawanga bye bansaba, era nnaabalabiriranga. Nnaabawanga ekisiikirize ng'omuti ogutaggwaako makoola. Nze nsibukamu emikisa gyabwe gyonna.” |
| 9 |
| Abalina amagezi bategeere ebyo, era babyekkaanye, kubanga Mukama by'akola bituufu, era abantu abakola ebituufu banaabigobereranga. Naye aboonoonyi baneesittalanga ne bagwa, kubanga tebabifaako. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/hosea/014.mp3
14
14