Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri. Ebibi byammwe bye bibaleetedde okugwa. |
| 2 |
| Mudde eri Mukama nga mwogera ebigambo bino nti, “Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, otwanirize n’ekisa, bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, ng’ebiweebwayo eby’ente ennume. |
| 3 |
| Obwasuli tebusobola kutulokola; Tetujja kwebagala mbalaasi ez’omu ntalo. Tetuliddayo kwogera nate nti, ‘Bakatonda baffe,’ nga twogera ku bintu bye twekoledde n’emikono gyaffe, kubanga mu ggwe, bamulekwa mwe bajja okusaasirwa.” |
| 4 |
| Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi, ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula. Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako. |
| 5 |
| Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri: alimulisa ng’eddanga, era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni. |
| 6 |
| Amatabi ge amato galikula; n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni, n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni. |
| 7 |
| Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye, era alibala ng’emmere ey’empeke. Alimulisa ng’omuzabbibu, era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni. |
| 8 |
| Ggwe Efulayimu mugabo ki gwe nnina mu bakatonda bo? Ndimwanukula ne mulabirira. Nninga omuberosi omugimu, era n’ebibala byo biva mu nze. |
| 9 |
| Abalina amagezi bategeera ensonga zino, era abakabakaba balibimanya. Amakuba ga Mukama matuufu, n’abatuukirivu bagatambuliramu, naye abajeemu bageesittaliramu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/hosea/014.mp3
14
14