EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Komawo ayi Isiraeri, eri Mukama Katonda wo; kubanga weesitadde olw'obutali butuukirivu bwo. |
| 2 |
| Mugende n'ebigambo era mudde eri Mukama, mumugambe nti, “Ggyawo obutali butuukirivu bwaffe bwonna, okkirize ebirungi, naffe tunawaayo ekibala eky'emimwa gyaffe. |
| 3 |
| Asuli talituwonya; tetulyebagala mbalaasi; so tetuligamba nate, ‘Katonda waffe,’ eri emirimu gye mikono gyaffe. Mu ggwe bamulekwa mwebafunira okusaasirwa.” |
| 4 |
| Ndiwonya obutali butuukirivu bwabwe; ndibaagala mu ddembe, kubanga obusungu bwange bukyuse ne bubavaako. |
| 5 |
| Ndiba ng'omusulo eri Isiraeri; alimulisa ng'eddanga, era alisimba emirandira gye nga Lebanooni. |
| 6 |
| Amatabi ge galyagaagala, obulungi bwe buliba ng'omuzeyituuni, n'akaloosa ke nga Lebanooni. |
| 7 |
| Balikomawo n'ebabeera wansi w'ekisiikirize kyange, baligimuka ng'ennimiro, ne bamulisa ng'omuzabbibu, akawoowo kaabwe kaliba ng'omwenge ogwa Lebanooni. |
| 8 |
| Efulayimu, kiki kyenina okukola ne ebifaananyi? Nze nkuddamu era ne nkunoonya. Ninga omuberosi omugimu, okuva gye ndi ebibala byo gy'ebiva. |
| 9 |
| Buli alina amagezi ategeere ebintu bino; buli alina okwawula, abimanye; kubanga amakubo ga Mukama matuufu, era abatuukirivu baagatambuliramu; naye abajeemu bagesittalako. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/hosea/014.mp3
14
14