Muwoze ne nnyammwe, muwoze: kubanga si mukazi wange, so nange siri bba: era aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n'obukaba bwe okuva wakati w'amabeere ge;
nneme okumwambulira ddala, ne mmuteekawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalirwa, ne mmufuula ng'eddungu, ne mmuteekawo ng'ensi enkalu, ne mmussa ennyonta;
Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n'alyoka ayogera nti Naagenda ne nzirayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi okusinga kaakano.
Era ndimubonereza olw'ennaku za Babaali be yayoterezanga obubaane; bwe yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be, ne yeerabira nze, bw'ayogera Mukama.
Era ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu nga nnyima eyo, n'ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira: era aliyima eyo okuddamu nga mu nnaku ez'obuto bwe, era nga mu nnaku lwe yalinnya okuva mu nsi y'e Misiri.
Era ndimusiga gye ndi mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti Mmwe muli bantu bange; nabo balyogera nti Ggwe oli Katonda wange.