EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe omulala, era nga mwenzi, nga Mukama bw'ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obukoleddwa mu zabbibu enkalu.” |
| 2 |
| Awo ne mmwegulira ne mmuwasa ne Sekeri za ffeeza kkumi na taano ne komeri eya sayiri, ne ngattako ne kitundu ekya komeri eya sayiri, |
| 3 |
| ne mmugamba nti, “Oteekwa okubeera awo ng'oli wange okumala ekiseera ekiwanvu; tolyefuula mwenzi, so toliba muka musajja mulala yenna, nange bwe ndiba bwe ntyo gy'oli.” |
| 4 |
| Kubanga abaana ba Isiraeri balimala ekiseera kiwanvu nga tebalina kabaka so nga tebalina mulangira, wadde omukulembeze, era nga tebalina ssaddaaka, newakubadde empagi, era nga tebalina kizibawo kya kabona newakubadde baterafi, |
| 5 |
| oluvannyuma abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe; era balijja mu kutya eri Mukama n'eri obulungi bwe mu nnaku ez'oluvannyuma. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/hosea/003.mp3
14
3