|
| 1 |
|
| Abayisirayeli muwulire Mukama ky'agamba, kubanga Mukama alina ky'avunaana abantu abali mu nsi eno. Tewali mazima wadde ekisa, era abantu tebamanyi Katonda mu nsi eno. |
|
| 2 |
|
| Ekiriwo kwe kukolima, okulimba, okutemula, okubba n'okwenda. Okuzza emisango kweyongera bweyongezi era obutemu buddirira butemu. |
|
| 3 |
|
| Ensi kyeriva ekala, na buli kiramu ekigiriko ne kifa. Ensolo zonna n'ebinyonyi n'ebyennyanja birifa. |
|
| 4 |
|
| Mukama agamba nti: “Waleme kubaawo n'omu avunaana bantu, wadde abanenya. Be nvunaana ye mmwe bakabona. |
|
| 5 |
|
| Mukola ensobi emisana n'ekiro, n'abalanzi nabo kye bakola nga mmwe. Nja kuzikiriza Yisirayeli nnyammwe. |
|
| 6 |
|
| Abantu bange bazikirizibwa, olw'obutamanya. Mmwe bakabona nga bwe mugaanye okummanya, nange ndibagaana okuba bakabona bange. Era nga bwe mwerabidde amateeka gange, nze Katonda wammwe, nange ndyerabira abaana bammwe. |
|
| 7 |
|
| “Bakabona gye bakoma okweyongera obungi, gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange. Ekitiibwa kyabwe ndikifuula ensonyi. |
|
| 8 |
|
| Bagaggawalira ku bibi by'abantu bange, kyebava baagala abantu beeyongere okwonoona. |
|
| 9 |
|
| Ng'abantu bwe bali, ne bakabona bwe baliba. Ndibabonereza olw'empisa zaabwe, mbasasuze olw'ebikolwa byabwe. |
|
| 10 |
|
| Balirya naye tebalikkuta, balyenda naye tebalyala, kubanga banvuddeko nze Mukama, okusinza balubaale.” |
|
| 11 |
|
| Mukama agamba nti: “Omwenge omukulu n'omusu, gumalawo okutegeera. |
|
| 12 |
|
| Abantu bange beebuuza ku kitiititi, omuggo gwabwe gwe gubabuulira kye baagala okumanya. Bakoze ng'omukazi omwenzi: banvuddeko nze Katonda waabwe, ne beewaayo mu balubaale. |
|
| 13 |
|
| Basalira ebitambiro ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emiti emiwanvu n'emyagaagavu, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi. “Abaana bammwe abawala kyebava beefuula bamalaaya, ne bakazi bammwe ne benda. |
|
| 14 |
|
| Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula bamalaaya, wadde bakazi bammwe bwe beefuula abenzi, kubanga mmwe mwennyini mudda wabbali awamu n'abakazi bamalaaya ab'omu masabo, ne muweerayo wamu nabo ebitambiro. Abantu abatategeera balizikirira. |
|
| 15 |
|
| “Newaakubadde mmwe Abayisirayeli temuli beesigwa gye ndi, naye ab'omu Buyudaaya baleme kusobya nga mmwe. Temusinzizanga Gilugaali, wadde e Betaveni. Era temulayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu.’ |
|
| 16 |
|
| Abayisirayeli babambaavu ng'ente enduusi. Kale nze Mukama nnaabaliisa ntya ng'omwana gw'endiga mu ddundiro eggazi? |
|
| 17 |
|
| Abayisirayeli basikiriziddwa okusinza ebitali Katonda. Kale basigale nga bwe bali. |
|
| 18 |
|
| Bwe bamala okutamiira, beemalira mu bwenzi. Baagala ensonyi okusinga bwe baagala ekitiibwa. |
|
| 19 |
|
| Balitwalibwa embuyaga, era balikwatibwa ensonyi olw'ebitambiro byabwe. |
|
|
|
|