Muwulire kino, mmwe bakabona, era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka, kubanga omusango guno gwammwe; kubanga mwabanga ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa ku Taboli.
Era amalala ga Isiraeri gaba mujulirwa gy'ali mu maaso ge: Isiraeri ne Efulayimu kyebaliva beesittala mu butali butuukirivu bwabwe: era ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka Yalebu: naye tayinza kubawonya, so talibavumula ekiwundu kyammwe.
Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento eri ennyumba ya Yuda: nze, nze mwene, nditaagula ne nvaawo; nditwalira ddala so tewaliba wa kuwonya.
Ndigenda ne nzirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange: mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya.