Luganda Bible
|
| 1 |
| Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga. |
| 2 |
| Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw'okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge. |
| 3 |
| Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng'enkya: era alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi efukirira ettaka. |
| 4 |
| Ai Efulayimu, naakukola ntya? ai Yuda, naakukola ntya? kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky'enkya era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali. |
| 5 |
| Kyennavanga mbatemya bannabbi; nnabassanga ebigambo eby'omu kamwa kange: n'emisango gyo giriŋŋanga omusana ogufuluma. |
| 6 |
| Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka; n'okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa. |
| 7 |
| Naye bo nga Adamu basobezza endagaano: eyo bankuusizza. |
| 8 |
| Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi. |
| 9 |
| Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe balindirira omusajja, ekibiina ekya bakabona bwe battira bwe batyo mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obukaba. |
| 10 |
| Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve: obwenzi bulabikidde eyo mu Efulayimu, Isiraeri ayonoonese. |
| 11 |
| Era naawe, ai Yuda, ebikungulwa byakuteekerwawo, bwe ndikomyawo obusibe obw'abantu bange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/hosea/006.mp3
14
6