Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Abantu bagamba nti: “Mujje tudde eri Mukama, kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya, ye yatufumita, era ye alitunyiga ebiwundu. |
| 2 |
| Mu nnaku bbiri oba ssatu alituzzaamu obulamu ne tubeera balamu mu maaso ge. |
| 3 |
| Tufube okumanya Mukama. Ajja kujja gye tuli awatali kubuusabuusa, ng'olunaku bwe lukya era ng'enkuba esooka mu mwaka bw'efukirira ettaka.” |
| 4 |
| Naye Mukama agamba nti: “Yisirayeli ne Buyudaaya nnaabakola ntya mmwe? Kubanga okwagala kwe munjagalamu, kuggwaawo mangu ng'olufu lw'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo, nga bukyali nkya. |
| 5 |
| Kyennaavanga ntuma abalanzi bange gye muli n'obubaka obubalumiriza omusango, era obubazikiriza. Kye mbaagaza kimanyiddwa bulungi. |
| 6 |
| Njagala kisa, sso si bitambiro. N'okumanya Katonda, kusinga ebitone ebyokebwa. |
| 7 |
| “Naye nabo nga Adamu, baamenya endagaano gye nakola nabo. |
| 8 |
| Gileyaadi kibuga ky'abo abakola ebibi era kijjudde ebitaba by'omusaayi. |
| 9 |
| Bakabona bali ng'ekibinja ky'abanyazi abateega omuntu. Batemulira abantu mu kkubo erigenda a Sekemu. Ddala bakola ebiswaza. |
| 10 |
| Ndabye eky'ekivve mu Yisirayeli: Abayisirayeli si beesigwa era boonoonese. |
| 11 |
| Era nammwe ab'omu Buyudaaya, ntaddewo ekiseera eky'okubabonererezaamu olw'ebyo bye mukola. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/hosea/006.mp3
14
6