BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| “Mujje tudde eri Omukama, ye yatuyuzaayuza era y'anaatuwonya; yatulumya, era y'anaatusiba ebiwundu byaffe. |
| 2 |
| Mu nnaku bbiri ajja kutuzzaamu obulamu; ku lunaku olwokusatu alitusitula tubeerewo mu maaso ge. |
| 3 |
| Tumanye, tunyiikirire okumanya Omukama; ng'okusala kwa mmambya bwe kutalimba, n'okujja kwe kituufu bwe kuliba; alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba ya Ttoggo efukirira ensi.” |
| 4 |
| “Nkukolere ki, Efurayimu? Nkukolere ki Yuda? Okwagala kwammwe kuli ng'olufu lw'oku makya, oba ng'omusulo ogukeera okuggwaawo. |
| 5 |
| Kyennava mbatemaatema obulere nga mpita mu balanzi, ne mbatta n'ebigambo by'akamwa kange, anti ennamula yange yavaayo ng'ekimyanso. |
| 6 |
| Kubanga njagala kisa sso si kitambiro, kumanya Katonda, naye si bitambiro byokye. |
| 7 |
| Baamenya endagaano e Adamu, eyo gye baamenyera obwesigwa gye ndi. |
| 8 |
| “Gileyaadi kibuga ky'abakola obubi, kirinnyiriddwa n'omusaayi. |
| 9 |
| Ng'abatemu abateegeredde omuntu, n'ekikwanga kya bakabona bwe kiri, batemula abantu ku kkubo eriraga e Sekemu; nga bakola ekintu kya bugwenyufu! |
| 10 |
| Mu nnyumba ya Yisirayeli nalabamu ekyesisiwaza: eyo Efurayimu yessa mu bwamalaaya, ne Yisirayeli yeegwagwawazza. |
| 11 |
| Naye naawe Yuda, amakungula gakutegekerwa, bwe ndimala okuzza abasibe b'abantu bange.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/hosea/006.mp3
14
6