Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| “Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga. |
| 2 |
| Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku olwokusatu alituzza buggya, ne tubeera balamu mu maaso ge. |
| 3 |
| Tumanye Mukama; tunyiikire okumumanya. Ng’enjuba bw’evaayo enkya, bw’atyo bw’alirabika; alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira, era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.” |
| 4 |
| Nkukolere ki, Efulayimu? Nkukolere ki, Yuda? Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya, era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu. |
| 5 |
| Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu, ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange, era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu. |
| 6 |
| Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka, era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa. |
| 7 |
| Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano, tebaali beesigwa. |
| 8 |
| Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi, era engalo zaabwe zijjudde omusaayi. |
| 9 |
| Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo, n’ebibiina bya bakabona bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu, ne bazza emisango egy’obuswavu. |
| 10 |
| Ndabye eby’ekivve mu nnyumba ya Isirayiri; era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya, ne Isirayiri gy’ayonoonekedde. |
| 11 |
| “Naawe Yuda, amakungula gatuuse. “Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange, |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/hosea/006.mp3
14
6