EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| “Mujje tudde eri Mukama; kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya; ye yatufumita; era ye alitunyiga. |
| 2 |
| Oluvannyuma lwe nnaku bbiri alituzaamu obulamu, ku lunaku olwokusatu alitusitula, tulyoke tubeera balamu mu maaso ge. |
| 3 |
| Tusobozese okumanya, tusobozese okunyiikira okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkakakkalira ng'enkya; alijja gyetuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi bwefukirira ettaka.” |
| 4 |
| Naakukola ntya, ayi Efulayimu? Naakukola ntya ayi Yuda? Okwagala kwo kuliŋŋaanga ekire eky'enkya, ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali. |
| 5 |
| N'olwekyo mbatemyeteme nga nkozesa bannabbi, mbassiza ne bigambo eby'omu kamwa kange, era n'omusango gwange galiŋŋaanga ekitangaala. |
| 6 |
| Kubanga njagala okwagala okutuukiridde so si ssaddaaka; okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa. |
| 7 |
| Naye bo, era nga Adamu basobezza endagaano: era bankuusizzakuusizza. |
| 8 |
| Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi. |
| 9 |
| Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe biteega omusajja, bw'ekityo n'ekibiina ekya bakabona bwe kyekuŋŋaanya awamu; batemulira abantu mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obutemu. |
| 10 |
| “ Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve; obwenzi bwa Efulayimu buli eyo, Isiraeri ayonoonese. |
| 11 |
| Era naawe, ayi Yuda, okukungula kutegekeddwa, bwe ndikomyawo emikisa gy'abantu bange.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/hosea/006.mp3
14
6