|
| 1 |
|
| Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'obubi bwa Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba: n'omubbi ayingira munda, n'ekibiina eky'abatemu banyagira e bweru. |
|
| 2 |
|
| So tebalowooza mu mitima gyabwe nga nze njijukira obubi bwabwe bwonna: kaakano ebikolwa byabwe bo bibazingizizza; biri mu maaso gange. |
|
| 3 |
|
| Basanyusa kabaka n'obubi bwabwe, n'abakungu n'eby'obulimba byabwe. |
|
| 4 |
|
| Bonna benzi; baliŋŋanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekera awo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka. |
|
| 5 |
|
| Ku lunaku lwa kabaka waffe abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge: yagolola omukono gwe wamu n'abanyoomi. |
|
| 6 |
|
| Kubanga bategese omutima gwabwe ng'akabiga, nga bateega: obusungu bwabwe bwebaka ne bukeesa obudde; enkya bwaka ng'omuliro ogwaka. |
|
| 7 |
|
| Bonna babugumye ng'akabiga, ne balya abalamuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde: tewali ku bo ankaabira. |
|
| 8 |
|
| Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu mugaati ogutakyusibwa. |
|
| 9 |
|
| Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi: weewaawo, atobese envi, so tamanyi. |
|
| 10 |
|
| mu maaso ge: era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo. |
|
| 11 |
|
| Era Efulayimu aliŋŋanga ejjiba essirusiru eritalina magezi: bakaabira Misiri, bagenda eri Obwasuli. |
|
| 12 |
|
| Bwe baligenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga: ndibakangavvula ng'ekkuŋŋaaniro lyabwe bwe baawuliranga. |
|
| 13 |
|
| Zibasanze kubanga bawabye okunvaako; okuzikirira kubatuukeko! kubanga bansobezza: newakubadde nga njagala okubanunula, era naye banjogeddeko eby'obulimba. |
|
| 14 |
|
| So tebankaabidde n'omutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe: bakuŋŋaanira eŋŋaano n'omwenge, banjeemera. |
|
| 15 |
|
| Newakubadde nga nayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi. |
|
| 16 |
|
| Bakomawo naye si eri oyo ali waggulu; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'okulaluka kw'olulimi lwabwe: kuno kwe kuliba okusekererwa kwabwe mu nsi y'e Misiri. |
|
|
|
|