Luganda Bible
|
| 1 |
| Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri. |
| 2 |
| Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe oba mu biro bya bajjajjammwe? |
| 3 |
| Mukibuulire abaana bammwe, n'abaana bammwe babuulire abaana baabwe, n'abaana baabwe ab'emirembe emirala. |
| 4 |
| Ebyo akawuka bye kafissizzaawo enzige ebiridde; n'ebyo enzige bye yafissizzawo kalusejjera kabiridde; n'ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde. |
| 5 |
| Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomerevu; kubanga gumaliddwawo okuva ku kamwa kammwe. |
| 6 |
| Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ery'amaanyi eritabalika: amannyo ge mannyo ga mpologoma, era alina amasongezo ag'empologoma enkulu. |
| 7 |
| Azisizza omuzabbibu gwange, era asasambudde omutiini gwange: agusasambulidde ddala, era agusudde wala; amatabi gaagwo gafuuse meeru. |
| 8 |
| Kungubaga ng'omuwala ey'esibye ebibukutu bw'akungubagira bba ow'omu buwala bwe. |
| 9 |
| Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddiwawo okuva mu nnyumba ya Mukama; bakabona, abaweereza ba Mukama, bawuubaala. |
| 10 |
| Ennimiro ezise, ensi ewuubaala; kubanga eŋŋaano ezise, omwenge omusu gukaze, amafuta gaggweerera. |
| 11 |
| Mukwatibwe ensonyi, mmwe abalimi, muwowoggane, mmwe abawawaagula emizabbibu, olw'eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nnimiro bifudde. |
| 12 |
| Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera; omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro, giwotose: kubanga essanyu liwotose okuva ku baana b'abantu. |
| 13 |
| Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab'ekyoto; mujje mugalamire nga mwambadde ebibukutu mukeese obudde, mmwe abaweereza ba Katonda wange: kubanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa baguguba nabyo eri ennyumba ya Katonda wammwe. |
| 14 |
| Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi eri ennyumba ya Mukama Katonda wammwe, mumukaabire Mukama. |
| 15 |
| Zitusanze olw'olunaku kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna. |
| 16 |
| Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, weewaawo, essanyu n'okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe? |
| 17 |
| Ensigo zivunda wansi w'amafunfugu gaazo; amawanika galekeddwawo, amaterekero gasuuliddwa; kubanga eŋŋaano ewotose. |
| 18 |
| Ensolo nga zisinda! amagana g'ente gabuliddwa amagezi, kubanga tezirina muddo; weewaawo, ebisibo by'endiga birekeddwawo. |
| 19 |
| Ai Mukama, ggwe nkaabira: kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro. |
| 20 |
| Weewaawo, ensolo ez'omu nsiko zikuwankirawankira: kubanga emigga egy'amazzi gikalidde, n'omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/joel/001.mp3
3
1