BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| “Ebyo nga biwedde, ndiyiwa Mwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga; abakadde bammwe baliroota ebirooto, n'abavubuka bammwe balirabikirwa. |
| 2 |
| N'abaddu bammwe n'abazaana bammwe mu nnaku ezo ndibayiwako Mwoyo wange. |
| 3 |
| Ndiraga ebikuuno ku ggulu ne ku nsi: omusaayi, omuliro n'empagi z'omukka.” |
| 4 |
| Enjuba erifuuka nzikiza, n'omwezi gulifuuka musaayi ng'olunaku lw'Omukama olukulu olw'entiisa terunnatuuka. |
| 5 |
| Buli alikoowoola erinnya ly'Omukama aliwonyezebwa; kubanga ku lusozi Siyoni kwe kuliba abanunuddwa, era ne mu Yeruzaalemu, ng'Omukama bwe yagamba, mu abo abawonyeewo mwe muliba Omukama b'ayita. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/joel/003.mp3
3
3