Luganda Bible
|
| 1 |
| Mukama n'agamba Musa nti |
| 2 |
| Gamba abaana ba Isiraeri nti Omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, kale omukazi oyo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye, bw'atyo bw'anaabanga atali mulongoofu. |
| 3 |
| Awo ku lunaku olw'omunaana omubiri gw'ekikuta kye gunaakomolwanga. |
| 4 |
| Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe; takomanga ku kintu ekitukuvu, so tayingiranga mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe ziriggwa. |
| 5 |
| Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, kale anaabanga atali mulongoofu ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe. |
| 6 |
| Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga; ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw'endiga ogw'omwaka ogw'olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona: |
| 7 |
| kale anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka ly'omukazi azaala, oba wa bulenzi oba wa buwala. |
| 8 |
| Era mu bintu bye bw'ataayinzenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi: era kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/leviticus/012.mp3
27
12