Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba oba kikuta oba mbalabe erungudde ku ddiba ly'omubiri gwe, ne kifuuka endwadde y'ebigenge ku ddiba ly'omubiri gwe, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona:
kale kabona anaakeberanga endwadde eri ku ddiba ly'omubiri: era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, n'ekifaananyi ky'endwadde nga kifulumye wansi w'eddiba ly'omubiri gwe, nga ye ndwadde y'ebigenge: awo kabona anaamukeberanga, n'amwatulira nga si mulongoofu.
awo kabona alimukebera nate ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, endwadde bw'eba nga tekyalabika nnyo, n'endwadde nga tebunye ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: nga kye kikuta: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu
kabona n'akebera, kale, laba, ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku ddiba, era nga kifudde obwoya okuba obweru, era ennyama enjere ennamu ng'eri awali ekizimba,
Era ebigenge bwe bifuutuukanga ku ddiba, ebigenge ne bibuna eddiba lyonna ery'omulwadde okuva ku mutwe okutuusa ku bigere, okulaba kwonna kabona kw'anaalabanga;
awo kabona anaakeberanga, era, laba, ekifaananyi kyakyo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga bufuuse okuba obweru, kale kabona anamwatuliranga nga si mulongoofu: ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute.
awo kabona anaagikeberanga: era, laba, obwoya obw'omu mbalabe erungudde bwe bunaabanga bufuuse okuba obweru, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye wansi w'eddiba; bino bye bigenge, byafuluma awaayokebwa: kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.
Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tefulumye wansi w'eddiba, naye nga terabika bulungi; kale kabona anaamusibiranga ennaku musanvu:
Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku ddiba, era nga terabika bulungi; nga kye kizimba eky'okwokebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa.
kale kabona anaakeberanga endwadde: awo, laba, ekifaananyi kyayo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, era nga mulimu enviiri eza kyenvu ez'entalaaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: ekyo kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kirevu.
Era kabona bw'anaakeberanga endwadde ey'ekikakampa, era, laba, ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamusibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu:
awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera endwadde: era laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye, so nga tewali nviiri za kyenvu, n'ekifaananyi ky'ekikakampa nga tekifulumye wansi w'eddiba,
Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo mulongoofu: kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
kale kabona anaakeberanga: awo, laba, embalabe ezirungudde eziri ku ddiba ly'omubiri gwabwe bwe zinaabanga enjeruyeru; nga bwe butulututtu, nga bufulumye mu ddiba; oyo mulongoofu.
Naye endwadde enjeruyeru era emmyufumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ak'ekiwalaata; ebyo bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata.
Awo kabona anaamukeberanga: kale, laba, ekizimba eky'endwadde bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata, ng'ekifaananyi ky'ebigenge bwe kiri ku ddiba ly'omubiri;
Era omugenge alina endwadde, engoye ze zinaabanga enjulifuyulifu, n'enviiri ez'oku mutwe gwe tazisibangako, era anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayogereranga waggulu nti Siri mulongoofu, siri mulongoofu.
endwadde bw'eneebanga eya nnawandagala oba emmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ndwadde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona:
kale alikebera endwadde ku lunaku olw'omusanvu: endwadde bw'eneebanga ebunye ku kyambalo, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku ddiba, omulimu gwonna eddiba gwe likola; endwadde nga bigenge ebirya; nga si kirongoofu.
Awo anaayokyanga ekyambalo, oba wuuzi za busimba, oba za bukiika, oba ng'eri mu byoya oba mu bafuta, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, omuli endwadde: kubanga ebyo bye bigenge ebirya; kinaayokebwanga mu muliro.
Era kabona bw'anaakeberanga, kale, laba, endwadde nga tebunye mu kyambalo, newakubadde mu wuuzi ez'obusimba, newakubadde mu z'obukiika, newakubadde mu kintu kyonna eky'eddiba;
awo kabona anaakeberanga, endwadde ng'emaze okwozebwa: kale, laba, endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, era endwadde nga tebunye, ekyo nga si kirongoofu; onookyokyanga mu muliro: eyo ye ndwadde erya, okukuubuuka bwe kunaabanga munda oba kungulu.
Era kabona bw'anaakeberanga, era, laba, endwadde nga terabika bulungi ng'emaze okwozebwa, kale anaagiyuzanga okugiggya mu kyambalo oba mu ddiba, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika:
era bw'eneebanga ekyalabika mu kyambalo, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, ng'efuutuuka: onooyokyanga n'omuliro ekyo ekirimu endwadde.
N'ekyambalo oba wuuzi ez'obusimba, oba ez'obukiika, oba kintu kyonna eky'eddiba nga bwe kinaabanga, ky'onooyozanga, endwadde bw'eneebanga ebivuddemu, kale ne kiryoka kyozebwanga omulundi ogw'okubiri, ne kiba kirongoofu.
Eryo lye tteeka ery'endwadde y'ebigenge mu kyambalo eky'ebyoya oba mu kya bafuta, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obuliika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, okukyatuliranga nga kirongoofu, oba okukyatuliranga nga si kirongoofu.