Era buno bwe bunaabanga obutali bulongoofu bwe obw'enziku ye: oba ng'atonnya enziku mu mubiri gwe, oba nga yaziyizibwa enziku mu mubiri gwe, buno bwe butali bulongoofu bwe.
Na buli omuziku gw'anaakomangako, nga tannanaaba ngalo mu mazzi, anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Era ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga ba kamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, najja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona:
kale kabona anaagawangayo, erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'enziku ye.
Era omukazi bw'anaabanga n'enziku, n'enziku ye mu mubiri gwe nga ya musaayi, anaamalanga ennaku musanvu ez'okweyawula kwe: na buli anaamukomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Era omusajja yenna bw'anaasulanga naye, n'obutali bulongoofu bwe ne buba ku ye, kale anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
Era omukazi bw'anaavangamu omusaayi gwe ennaku nnyingi so nga si bye biro eby'okweyawula kwe, oba bw'anaavangamu omusaayi okusukkirira ebiro eby'okweyawula kwe; ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe anaabanga nga bw'aba mu nnaku ez'okweyawula kwe: oyo nga si mulongoofu.
Bwe mutyo bwe munaayawulanga abaana ba Isiraeri n'obutali bulongoofu bwabwe; baleme okufiira mu butali bulongoofu bwabwe, bwe banaayonoonanga eweema yange eri wakati mu bo.