Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira.
Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango.
Naye embuzi eneegwangako akalulu ak’okugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, n’eteebwa n’eddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ng’esibiddwako omusango olw’okutangirira.
Anassanga obubaane ku muliro eri Mukama, n’omukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe ey’okusaasira eri kungulu w’Essanduuko ey’Endagaano, alyoke aleme okufa.
Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto.
Ku musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto n’olunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu n’okukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obw’abaana ba Isirayiri.
“Alooni anaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo.
Anaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, n’alyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, n’ekiweebwayo ekyokebwa olw’abantu bonna, alyoke yeetangiririre era n’abantu abatangiririre.
kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda.