|
| 1 |
|
| Mukama n'agamba Musa nti: |
|
| 2 |
|
| “Yogera n'Abayisirayeli obagambe nti Nze Mukama, Katonda wammwe. |
|
| 3 |
|
| Temuugobererenga mpisa za bantu b'e Misiri gye mwabeeranga, wadde ez'abantu b'omu nsi y'e Kanaani, gye mbatwalamu. Temuutambulirenga ku mateeka gaabwe. |
|
| 4 |
|
| Muwulirenga amateeka gange, era mukolenga bye mbalagira. Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 5 |
|
| Mugobererenga amateeka n'ebiragiro bye mbawa. Anaabituukirizanga, anaabanga mulamu. Nze Mukama. |
|
| 6 |
|
| “Tewaabenga ku mmwe asemberera wa buko yenna okwebaka naye. |
|
| 7 |
|
| Toswazanga kitaawo nga weebaka ne nnyoko. Nnyoko teweebakanga naye. |
|
| 8 |
|
| Toswazanga kitaawo ng'obaako n'omu ku bakazi be abalala gwe weebaka naye. |
|
| 9 |
|
| Teweebakanga na mwannyoko, omwana wa kitaawo, oba owa nnyoko, k'abe nga yakulira wamu naawe awaka, oba nga yakulira walala. |
|
| 10 |
|
| Teweebakanga na mwana wa mutabani wo, oba owa muwala wo, kubanga ekyo kikuswaza. |
|
| 11 |
|
| Teweebakanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe, kubanga naye mwannyoko. |
|
| 12 |
|
| Teweebakanga na ssenga wo, kubanga mwannyina kitaawo. |
|
| 13 |
|
| Teweebakanga na nnyoko omuto, kubanga muganda wa nnyoko. |
|
| 14 |
|
| Teweebakanga na muka kitaawo omuto. Oyo naye aba nnyoko. |
|
| 15 |
|
| Teweebakanga na muka mwana wo, |
|
| 16 |
|
| era teweebakanga na muka muganda wo. |
|
| 17 |
|
| Teweebakanga na mukazi, n'ogattako muwala we, oba muwala wa mutabani we, oba owa muwala we. Ekyo kivve, kubanga abo ba buko. |
|
| 18 |
|
| Totwalanga muganda wa mukazi wo kumufuula muggya we, ne weebaka naye, nga mukazi wo akyali mulamu. |
|
| 19 |
|
| “Teweebakanga na mukazi mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, kubanga abalibwa obutaba mulongoofu. |
|
| 20 |
|
| Teweebakanga na muka musajja. Ekyo kikufuula atali mulongoofu. |
|
| 21 |
|
| Towangayo n'omu ku baana bo kuwongerwa lubaale Moleki, n'ovumaganya erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama. |
|
| 22 |
|
| Teweebakenga na musajja munno nga bwe beebaka n'abakazi. Ekyo kyenyinyalwa. |
|
| 23 |
|
| Omusajja oba omukazi teyeebakenga na nsolo. Obugwenyufu obwo bumufuula atali mulongoofu. |
|
| 24 |
|
| “Temweyonoonanga nga mubaako n'ekimu ku ebyo kye mukola. Ebyo byonna bye byayonoona ab'amawanga ge ngoba mu nsi eno okuleetamu mmwe. |
|
| 25 |
|
| Ebikolwa byabwe byayonoona ensi eno, kyenva ngibonereza n'eggweeramu ddala abantu abaagirimu. |
|
| 26 |
|
| Baakola ebyenyinyalwa ebyo byonna, ne boonoona ensi. Naye mmwe temuubikolenga. Mwenna Abayisirayeli n'abagwira ababeera mu mmwe, mukuumenga amateeka n'ebiragiro byange, |
|
| 27 |
|
|
|
| 28 |
|
| muleme kugobwa mu nsi eno, ng'abantu abaasooka mmwe okugibeeramu bwe baagyonoona ne bagobwamu. |
|
| 29 |
|
| Buli anaabangako ky'akola ku byenyinyalwa ebyo, anaabanga takyabalirwa mu bantu bange. |
|
| 30 |
|
| “Kale mukuumenga bye mbakuutira, mulemenga kugoberera mpisa ezo ezeenyinyalwa, ezaagobererwanga abo abaasooka mmwe okubeera mu nsi eno, era mulemenga kweyonoona nga mukola ebyo. Nze Mukama Katonda wammwe.” |
|
|
|
|