|
| 1 |
|
| Mukama n'agamba Musa nti, |
|
| 2 |
|
| “Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 3 |
|
| Temukolanga ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri gye mwatuulangamu, newakubadde eby'omu nsi ey'omu Kanani gye mbatwalamu, so temutambuliranga mu mpisa zaabwe. |
|
| 4 |
|
| Munaakwatanga ebiragiro byange, n'amateeka gange ge munaatambulirangamu. Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 5 |
|
| Kale mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu: Nze Mukama.” |
|
| 6 |
|
| “Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okwegatta naye. Nze Mukama. |
|
| 7 |
|
| Toswazanga kitaawo nga wegatta ne nnyoko. Nnyoko teweegattanga naye. |
|
| 8 |
|
| Teweegattanga na musika wa nnyoko okuswaza kitaawo. |
|
| 9 |
|
| Teweegattanga na mwannyoko azaalibwa kitaawo oba azaalibwa nnyoko, abeere nga yazaalibwa waka oba walala. |
|
| 10 |
|
| Teweegattanga na muzzukulu wo oba wa mulenzi oba wa muwala. |
|
| 11 |
|
| Teweegattanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe. Oyo mwannyoko, teweegattanga naye. |
|
| 12 |
|
| Teweegattanga na senga wo, kubanga oyo mwannyina kitaawo. |
|
| 13 |
|
| Teweegattanga na muganda wa nnyoko, kubanga oyo naye nnyoko. |
|
| 14 |
|
| Teweegattanga na mukazi wa kitaawo omuto. Oyo naye nnyoko. |
|
| 15 |
|
| Teweegattanga na muka mwana wo. |
|
| 16 |
|
| Teweegattanga na muka muganda wo. |
|
| 17 |
|
| Teweegattanga na mukazi ate ne wegatta ne muwala we, so era teweegattanga na muzzukulu we, oba wa mulenzi oba wa muwala; ekyo kibi. |
|
| 18 |
|
| Teweegattanga na mukazi wamu ne mugandawe, okuba muggyawe, nga mukazi wo akyali mulamu. |
|
| 19 |
|
| Teweegattanga na mukazi ali mu mbeera z'abakazi ez'okweyawula kwabwe. |
|
| 20 |
|
| Teweegattanga na muka muliraanwa wo. |
|
| 21 |
|
| Towangayo ku zzadde lyo okuba ssaddaaka ey'omuliro eri Moleki, okuvumaganyisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama. |
|
| 22 |
|
| Teweegattanga na musajja nga bwe begatta n'abakazi, ekyo kya muzizo. |
|
| 23 |
|
| Omusajja oba omukazi, teyegattanga na nsolo yonna; obwo bugwagwa.” |
|
| 24 |
|
| “Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna; kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe; |
|
| 25 |
|
| n'ensi eyonoonese; kyenva mbagaanira ddala, ne mbazikiririza ddala okuva mu nsi. |
|
| 26 |
|
| Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange, so temukolanga bya mizizo ebyo byonna; enzaalwa oba munnaggwanga atuula mu mmwe. |
|
| 27 |
|
| Abasajja abaasooka mu nsi baakola eby'emizizo ebyo byonna ensi n'eyonooneka; |
|
| 28 |
|
| nammwe nneme okubagaana, n'okubazikiririza ddala nga bwe nnakola eggwanga ery'abasooka. |
|
| 29 |
|
| Omuntu yenna bw'anaakolanga ku by'emizizo ebyo, anaaboolebwanga mu bantu be. |
|
| 30 |
|
| Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga mpisa yonna ku ezo ez'omuzizo ezakolebwanga abaabasooka. Nze Mukama Katonda wammwe.” |
|
|
|
|