|
| 1 |
|
| Awo Mukama Katonda n’agamba Musa |
|
| 2 |
|
| ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu. |
|
| 3 |
|
| “Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 4 |
|
| “Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 5 |
|
| “Bwe munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo olw’emirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe. |
|
| 6 |
|
| Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro. |
|
| 7 |
|
| Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga, |
|
| 8 |
|
| ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya Mukama ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne. |
|
| 9 |
|
| “Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula. |
|
| 10 |
|
| Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 11 |
|
| “Tobbanga. “Tokumpanyanga. “Temulimbagananga. |
|
| 12 |
|
| “Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama. |
|
| 13 |
|
| “Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye. “Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula. |
|
| 14 |
|
| “Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama. |
|
| 15 |
|
| “Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya. |
|
| 16 |
|
| “Togendanga ng’osaasaanya eŋŋambo mu banno. “Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama. |
|
| 17 |
|
| “Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye. |
|
| 18 |
|
| “Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama. |
|
| 19 |
|
| “Okwatanga amateeka gange. “Tokkirizanga nsolo za ngeri ndala kuzaazisa mu nsolo zo. “Mu nnimiro yo tosimbangamu nsigo za ngeri bbiri. “Toyambalanga kyambalo eky’olugoye olw’ebiwero eby’engeri ebbiri. |
|
| 20 |
|
| “Omusajja bw’aneebakanga n’omuddu omukazi n’amusobyako, naye ng’omukazi oyo tannaweebwa ddembe lye, kyokka ng’aliko omusajja amwogereza, wanaabangawo okuwozesebwa n’ebibonerezo, naye tebattibwenga, kubanga omukazi anaabanga tannaweebwa ddembe lye. |
|
| 21 |
|
| Naye omusajja anaaleetanga endiga ennume ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga ky’ekiweebwayo kye eri Mukama eky’omusango. |
|
| 22 |
|
| Kabona anaakozesanga endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango okutangiririra omusajja oyo eri Mukama; era ekibi kye ky’anaabanga akoze kinaamusonyiyibwanga. |
|
| 23 |
|
| “Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egy’ebibala ebyokulya, mukitegeere nti ebibala byagyo biriba ng’ebiwereddwa. Biriwerebwa okumala emyaka esatu; tebijjanga kuliibwanga. |
|
| 24 |
|
| Mu mwaka ogwokuna ebibala byako byonna binaabanga bitukuvu, nga kye kiweebwayo eri Mukama eky’okumutendereza. |
|
| 25 |
|
| Naye mu mwaka ogwokutaano munaayinzanga okulya ku bibala byako. Mu ngeri eno ebibala byako bigenda kweyongeranga nnyo. Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 26 |
|
| “Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi; “so tokolanga bya ddogo wadde eby’okulagula. |
|
| 27 |
|
| “Enviiri ez’oku mabbali g’omutwe gwo tozisalangako; n’ekirevu kyo tokikomolanga. |
|
| 28 |
|
| “Toweesalanga misale ku mubiri gwo olw’okujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze Mukama. |
|
| 29 |
|
| “Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona. |
|
| 30 |
|
| “Mukuumanga Ssabbiiti zange era mussangamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu. Nze Mukama. |
|
| 31 |
|
| “Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 32 |
|
| “Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama. |
|
| 33 |
|
| “Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi. |
|
| 34 |
|
| Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe. |
|
| 35 |
|
| “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. |
|
| 36 |
|
| Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri. |
|
| 37 |
|
| “Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.” |
|
|
|
|