|
| 1 |
|
| “Era omuntu yenna bw'awangayo ekiweebwayo eky'obutta eri Mukama, kinaabanga kya butta bulungi; era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu; |
|
| 2 |
|
| awo anaakireeteranga abaana ba Alooni bakabona. Kabona anaayolangako olubatu olw'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta n'omugavu n'abwokera ku kyoto, okuba ekijjukizo eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. |
|
| 3 |
|
| Ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be; kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro. |
|
| 4 |
|
| “Era bw'anaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obwokeddwa mu kabiga, kinaabanga kya migaati egitazimbulukusiddwa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukusiddwa egisiigiddwako amafuta. |
|
| 5 |
|
| Era bw'onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta bulungi obutazimbulukusiddwa obutabuddwamu amafuta. |
|
| 6 |
|
| Onookimenyangamu obutundu n'obufukako amafuta; kye kiweebwayo eky'obutta. |
|
| 7 |
|
| Era bw'onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta obulungi obutabuddwamu amafuta. |
|
| 8 |
|
| Awo onooleetanga ekiweebwayo ekyo eky'obutta eri Mukama; ne kabona anaakitwalanga ku kyoto. |
|
| 9 |
|
| Awo kabona anaatoolanga ku kiweebwayo eky'obutta ng'ekijjukizo; n'akyokera ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama. |
|
| 10 |
|
| N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be; kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro. |
|
| 11 |
|
| Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekitabuddwamu ekizimbulukusa; temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. |
|
| 12 |
|
| Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ebiweebwayo eky'ebibereberye; naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi. |
|
| 13 |
|
| Era buli kiweebwayo ky'onoowangayo on'okirungangamu omunnyo, kubanga omunnyo ke kabonero ak'endagaano wakati wo ne Mukama. |
|
| 14 |
|
| “Era bw'onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye eri Mukama, onoowangayo eŋŋaano embisi, embetentere mu birimba byayo eyokeddwa n'omuliro. |
|
| 15 |
|
| Era onoogifukangako amafuta, noogiteekangako omugavu; ekyo kye kiweebwayo eky'obutta. |
|
| 16 |
|
| Era kabona anaayokyanga ekitundu ky'eŋŋaano embetente, n'ekitundu ky'amafuta, wamu n'omugavu gwakyo gwonna; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. |
|
|
|
|