Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu.
omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.
“ ‘Omusajja bw’anaawasanga omukazi ate n’atwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye n’abakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako.
“ ‘Omusajja bw’anaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era y’aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olw’ekibi ekyo.
“ ‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo n’okola naye eby’ensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda ow’okumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olw’ekyonoono kyammwe ekyo.
“ ‘Omusajja bw’aneebakanga ne muka kitaawe omuto oba ne muka kojjaawe, anaabanga aweebudde bakadde be abo. Omusajja oyo n’omukazi oyo be baneetikkanga obuvunaanyizibwa obw’ekibi ekyo, era balifa nga tebalina baana.
Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.
“ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”