Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga mu buto bwe, anaalyanga ku mugaati gwa kitaawe: naye tewabangawo mugenyi anaalyanga ku gwo.
Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti Buli muntu yenna ow'oku nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone lye, bwe kinaabanga obweyamo bwabwe bwonna, oba ekiweebwayo kyonna kye bawaayo ku bwabwe, kye bawaayo eri Mukama okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
Era buli anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukiriza obweyamo, oba okuba ky'awaayo ku bubwe, ku nte oba ku mbuzi, eneebanga ntuukirivu eryoke ekkirizibwe; tebangako bulema.
Enzibe y'amaaso, oba emmenyefu, oba ennema, oba eriko amabwa oba obuwere oba kabootongo, ezo temuziwangayo eri Mukama, so temubifuulanga ekiweebwayo n'omuliro eri Mukama ku kyoto.
Oba ente oba omwana gw'endiga eriko ekintu kyonna ekisukkirira oba ekitatuuka mu bitundu byayo, eyo oyinza okuwaayo okuba ky'owaayo ku bubwo: naye okuba obweyamo tekkirizibwenga.
So ne mu mukono gwa munnaggwanga temuwangayo mugaati gwa Katonda wammwe ogugendera ku ezo zonna; kubanga okwonooneka kwazo kuli mu zo, ziriko obulema: tezikkirizibwenga ku lwammwe.