N'okuwuula kwammwe kunaatuukanga ku kunoga zabbibu, n'okunoga kunaatuukanga ku biro eby'okusigiramu: era munaalyanga emigaati gyammwe okukkuta, ne mutuula mu nsi yammwe mirembe.
Nange naawanga emirembe mu nsi, era munaagalamiranga so tewaabenga anaabatiisanga: era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so n'ekitala tekiiyitenga mu nsi yammwe.
Era naasindikanga mu mmwe ensolo ey'omu nsiko, eneebanyagangako abaana bammwe, era eneezikirizanga ebisibo byammwe, era eneebakendeezanga; n'amakubo gammwe ganaazikanga:
Era naabaleetangako ekitala, ekinaawalananga eggwanga ery'endagaano; era munaakuŋŋaanyizibwanga wamu mu bibuga byammwe: era naasindikanga kawumpuli ku mmwe; era munaagabulwanga mu mukono gw'omulabe.
Bwe nnaamenyanga omuggo gwammwe ogw'omugaati, abakazi kkumi banaayokeranga emigaati gyammwe mu kabiga kamu, era banazzanga nate emigaati gyammwe nga bagipimye mu minzani: era munaalyanga ne mutakutta.
N'abo abanaasigalangawo ku mmwe, naasindikanga obutabaamu mwoyo mu mutima gwabwe mu nsi z'abalabe baabwe: n'eddoboozi ly'akasubi akamenyeka linaabagobanga; era banaddukanga ng'omuntu bw'adduka ekitala; era banaagwanga nga tewali agoba.
N'abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakoozimbiranga mu butali butuukirivu bwabwe mu nsi z'abalabe bammwe; era ne mu butali butuukirivu bwa bajjajja baabwe mwe banaakoozimbiranga wamu nabo.
Era banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe, n'obutali bu tuukirivu bwa bajjajja baabwe, mu kusobya kwabwe kwe bansobyako, era nga tebaatambula nange,
era nga kyennaava ntambulira nange mu kuyomba nabo ne mbaleeta mu nsi y'abalabe baabwe, kubanga baatambulira mu kuyomba nange: kale omutima gwabwe ogutali mukomole bwe gunaatoowazibwanga, kale ne bakkiriza okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe;
awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo; era n'endagaano gye nnalagaana ne Isaaka, era n'endagaano yange gye nnalagaana ne Ibulayimu naagijjukiranga: era najjukiranga ensi.
Era ensi banaagirekanga, n'esanyukira ssabbiiti zaayo, ng'ekyazise bo nga tebaliimu; era banakkirizanga okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe: kubanga baagaana emisango gyange, eyo ye nsonga, n'obulamu bwabwe ne bukyawa amateeka gange.
naye najjukiranga ku lwabwe endagaano ya bajjajja baabwe, be nnaggya mu nsi y'e Misiri mu maaso g'amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: nze Mukama.