Era bw'anaabanga yaakamaze mwezi gumu okutuusa ku myaka etaano, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri za ffeeza ttaano, n'okubala kwo okw'ow'obuwala kunaabanga sekeri za ffeeza ssatu.
Tagikyusanga so tagiwaanyisanga, ekirungi mu kifo ky'ekibi, oba ekibi mu kifo ky'ekirungi: n'okuwaanyisa bw'anaawaanyisanga ensolo n'ensolo, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu.
Era omuntu bw'anaatukuzanga ennyumba ye okuba entukuvu eri Mukama, kale kabona anaagiramulanga, oba nga nnungi oba nga mbi: nga kabona bw'anaagiramulanga, bw'eneebanga bw'etyo.
Naye bw'anaatukuzanga ennimiro ye jjubiri nga guweddeko, kale kabona anaamubaliranga ebintu ng'emyaka bwe giri egikyasigaddeyo okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, ne bakendeeza ku bintu bye walamula.
kale kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ebintu bye walamula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: era anaawanga ebintu bye walamula ku lunaku olwo, ng'ekintu ekitukuvu eri Mukama.
Era bw'eneebanga ya ku nsolo eteri nnongoofu, kale anaaginunulanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga, n'agattako ekitundu kyako eky'okutaano: oba bw'eteenunulibwenga, kale eneetundibwanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga.
Naye tewabanga kiatu ekyawongebwa, omuntu ky'anaawongeranga Mukama ku byonna by'alina, oba nga muntu oba nga nsolo, oba nga nnimiro ya butaka bwe, ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga: buli kintu ekyawongebwa kiba kitukuvu nnyo eri Mukama.
Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga: n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu: tenunulibwanga.