“ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo.
Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda,
anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza.
Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda,
anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza.