Buulira abaana ba Isiraeri ng'oyogera nti Omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo:
Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'attira ente mu maaso ga Mukama.
Awo kabona anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogw'ente anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
ente yonna anaagitwalanga ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu, ewu we lifukwa, agyokyenga n'omuliro ku nku: evvu we lifukwa eyo gy'eneeyokerwanga.
Era oba ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaasobyanga, ekigambo ne kikwekebwa mu maaso g'ekibiina, era nga bakoze ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era nga bazzizza omusango;
Awo anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'omusaayi gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
Bw'atyo bw'anaakolanga ente; nga bwe yakola ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, bw'atyo bw'anaakolanga eno: ne kabona anaabatangiriranga, bo ne basonyiyibwa.
Era oba ng'omuntu yenna ku bantu ab'omu nsi ayonoona nga tamanyiridde, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango;